ABAWAGIZI ba NRM e Kassanda basabye Pulezidenti Museveni era ssentebe w’ekibiina ayingire mu mivuyo egyali mu kamyufu naddala mu Kassanda South, bakkakkane emitima ng’okulonda kwa 2026 tekunnatuuka.
Abalonzi n’okutuusa kati si bamativu n’ebya mu kulonda oluvannyuma lwa Abdu Bisaso okulangirirwa ku buwanguzi ekyaleka abawagizi ba Eria Mubiru nga beekokkola emivuyo egyali mu kululu ne bawakanya n’ebyavaamu.
Ensonga Mubiri yazongera mu kakiiko ka NRM aka bannamateeka kyokka baagobye okwemulugunya kwe ne bakakasa Bisaso ku buwanguzi. Mubiru alumiriza nti yalina obujulizi obw’enkukunala nga bulaga nga bwe yabbibwa.
“Banaffe bali mu bbinu nga bajaguza nti akakiiko kaabalangiridde kyokka ffe tetunnalaba ku byavuddeyo, ne twewuunya enkola eno,” Keneth Musabe, omu ku bawagizi bwe yagambye. Bannamateeka ba Eria Mubiru aba Amgualia Busiku & Co. Advocates baawandikira akakiiko nga babuuza ekituufu ku nsalawo.
“Nga July 8, twafuna ebbaluwa etutegeeza nti ensala yali ewedde naye bwe twaginona, mwatutegeeza nti yali tennaba ne muwandiikira n’omuntu waffe nga mumutegeeza nti mwali mwetaaga obudde okwongera okunoonyereza...,” ebbaluwa ya balooya ba Mubiru bwe yasomye.
Baasabye akakiiko okulondoola ebbaluwa eyabadde etambula ku mitimbagano ng’eraga nti Bisaso yawangudde era balung’amye ekituufu bwangu. Mu kwanukula, ssentebe w’akakiiko, John Musiime yagambye nti kituufu baafunye okwemulugunya ku bbaluwa eraga ebyavudde mu kulonda eyafulumizibwa nga August 7 kyokka n’abasaba nti baleme kugifaako, ensonga bagenda kugikolako.
Yagambye nti ebbaluwa eno yali tennaba kumalirizibwa n’esomolwa n’agamba nti entuufu yafulumye nga August 22 kyokka ebiri bbaluwa empya bifaanangana n’ebyala mu yasooka. Kino kyalese abawagizi ba Mubiru nga bawotose.