Mock wa Bukedde akyagenda mu maaso

OLUPAPULA lwa Bukedde lukyagenda mu maaso n’okufulumya Pass PLE Mocks . Olwaleero mulimu ekigezo kya Integrated Science ne ansa za Social Studies, ate enkya ku Lwokuna nga August 28, 2025, mujja kubeeramu ekibuuzo kya English awamu ne ansa za Integrated Science. Ku Mmande nga September 1, 2025 mwe mujja okubeera ansa z’ekigezo ky’Olungereza.

Abayizi ba Kids Care Primary School e Kayunga nga bakola ekigezo kya Math mu Bukedde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OLUPAPULA lwa Bukedde lukyagenda mu maaso n’okufulumya Pass PLE Mocks . Olwaleero mulimu ekigezo kya Integrated Science ne ansa za Social Studies, ate enkya ku Lwokuna nga August 28, 2025, mujja kubeeramu ekibuuzo kya English awamu ne ansa za Integrated Science. Ku Mmande nga September 1, 2025 mwe mujja okubeera ansa z’ekigezo ky’Olungereza.
Oluvannyuma lwa Mock, Bukedde agenda kuddamu okufulumya Pass PLE buli lwa Mmande ne Thursday.
Akulira Bukedde, Michael Mukasa Ssebbowa yategeezezza nti ebigezo bino bitegekeddwa abasomesa abakugu nga bagoberera nung’amya y’ekitongole ekitegeka ebisomesebwa ekya National Curriculum Development Centre n’eky’ebigezo ekya UNEB.
Ssebbowa yagambye nti ng’oggyeeko Pass PLE, Bukedde era erina entegeka z’okuddamu okutegeka empaka za Quiz mu wiiki esooka eya October. Mu nkola eno baleeta abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo ne bakung’anira mu kifo kimu neb babuuzibwa ebibuuzo nga bwe babiddamu. Yakubirizza abazadde n’abasomesa okujjumbira okugulira abayizi Bukedde leero n’enkya nga August 28, kuba n’ebbeeyi asigadde ku 1,000/- buli katabo wadde nga muteereddwamu ntanda enzito.
PASS PLE ajja kusigala ng’afulumizibwa buli Mmande ne ku Lwokuna era abayizi tebasaana kumusubwa olw’ebigezo eby’akamalirizo ebya PLE ebisembedde