EKIBIINA kya NUP kisabuukuludde ekitebe ekipya mu buvanjuba bw’eggwanga, kye bazimbidde mu nkukutu okumala omwaka mulamba.
Kizimbiddwa Nakavule mu disitulikiti y’e Iganga, nga we wagenda okuba ofiisi z’omumyuka wa pulezidenti wa NUP mu buvanjuba, nga mu kiseera kino kirimu omubaka John Baptist Nambeshe (Manjiya).
Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yasinzidde mu kuggulawo ekitebe kino ku Mmande, n’asaba minisita w’ensonga z’obuvanjuba bwa Africa, Rebecca Kadaga yeegatte ku NUP kuba mu NRM bamusenza luti.
Kyagulanyi eyabadde ayogera ku Kadaga nga Ssenga we kuba yeddira Mbogo, yagambye nti NUP yatandikira Busoga mu kalulu ka Asuman Basalirwa e Bugiri olwo n’esaasaanira eggwanga lyonna. Okugula ettaka n’okuzimba ekitebe kino Kyagulanyi yagambye nti kibatwalidde omwaka mulamba, era babadde bakikuuma nga kya kyama, nga beewala okutaataganyizibwa. Ne ku lunaku lwe bagguddewo ekitebe, abakulembeze ba NUP baavudde e Kavule nga tebamanyi gye balaga.
Abamu ku bakulembeze abaayogeddeko ne Bukedde baagambye nti Kyagulanyi yabakubidde essimu bakungaanire e Kavule kumakya, era bwe baatuuse n’abagamba nti bagoberere mmotoka ye, agendako Mbale. Baagenze okulaba nga baggukira ku kitebe ekipya e Iganga ne bibaggwaako.
Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yagambye nti amaze ennaku eziwera nga alambula emirimu ku kitebe kino, kyokka nga tewali akimanyi. Yagambye nti NUP terina ssente naye bye yaakakolako biraga nti Uganda singa ekozesa bulungi ssente zaayo, esobola okukola ebigasa abantu.
Nambeshe yasabye abantu b’omu buvanjuba okwongera amaanyi mu kukunga, bafune ebifo ebiwerako mu 2026, kuba kati bafunye ekitebe we banaasinziiranga okusaasaanira ekitundu ekyo kyonna