Ggaasi abaluse n’alumya abayizi 5

GGAASI afumba abaluse mu kisulo ky’abayizi ba yunivasite y’e Kyambogo ekya Sports Pro Hostel e Banda B9 n’awangulamu enzigi n’amadirisa g’ekizimbe n’okulumya abamu ku bayizi.

Poliisi ng’eri mu kifo ggaasi we yabalukidde.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GGAASI afumba abaluse mu kisulo ky’abayizi ba yunivasite y’e Kyambogo ekya Sports Pro Hostel e Banda B9 n’awangulamu enzigi n’amadirisa g’ekizimbe n’okulumya abamu ku bayizi.
Bino byabaddewo ku Mmande ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi, nga kigambibwa nti waliwo omuvubuka eyabadde afumba wabula ne yeerabira okuggyako ggaasi era yabaluse omulundi gumu.
Bashirah Salmah omu ku bayizi abaasimattuse yategeezezza nti baawulidde ekintu ekibwatuka ne basooka balowooza nti masannyalaze kyokka baagenze okutuuka baasanze ggaasi y’abaluse ng’akumye ekikka, ng’awanguddemu enzigi, amadirisa n’endabirwamu ziyiisene zigwira abayizi abamu ne bakosebwa.
Abayizi baawagaanyizza okufuna we bayita n’abamu ne babuuka okuva ku kizimbe waggulu ne bagwa wansi okutaasa
obulamu. Oluvannyuma abadduukirize bazze, abaakoseddwa ne batwalibwa mu ddwaaliro. Omubaka wa Nakawa East, Ronald Balimwezo yatuuseeko mu kifo kino n’asaasira abaakoseddwa. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti tewali muyizi yafudde mu kabenje kano wabula waliwo abayizi bataano
abaakoseddwa okuli; Flavia Chelangat ne Florence Akello nga ’abalala basatu baabadde tebannategeerekeka mannya ssaako omukuumi eyategeerekeseeko erya Frank