EMBEERA yabadde ya kiyongobero ku kkanisa ya Jubilee Christian Life Church International, e Ntebetebe mu Bwoyogerere mu mu kusabira omugenzi , Anthony Mutinisa, 53, (waggulu) abadde nnannnyini kkampuni ya Mutinisa Motors and Driving School, esangibwa e Ntinda, mu Divisoni y’e Nakawa. Mutinisa yakubiddwa amasasi omukuumi we, Hilary Byarugaba ku Ssande n’atwala ssente n’emmotoka.
Ku Lwokubiri, waategekeddwaawo okusabira omubiri gw’omugenzi era wano Apostle Dr. Evans Kulaba nga y’asumba ekkanina eno yalaze obwennyamivu olw’abavubuka abasusse okwagala okufuna ebyamangu. Nnamwandu Rebecca Mutinisa yayogedde ku bba gwe baalabagna naye mu 2007 mu kkanisa eno era ng’amulekedde abaana babiri. Omugenzi waakuziikibwa leero e Hoima.
OMUKUUMI AKWATIDDWA
Hillary Byaruhanga 28, agambibwa okukuba Mutinisa amasasi agaamusse akwatiddwa. Yasangiddwa mu Town Council y’e Kihihi e Kanungu gye yabadde yeekukumye n’emmotoka nnamba UA 769 BQ gye yabbye ku mukama we. Byaruhanga yakwatiddwa ne Mark Akampa nga kiteeberezebwa nti olukwe lw’okubba n’okutta Mutinisa baaluse bombi.