BWABADDE akulembeddemu ekitambiro kya Mmisa mwabatiriza abaana abasoba mu 50 bwanamukulu w'ekigo kya St. Kizito Bwaise Msgr. Johnbaptist Ssebayiga alambuludde lwaki krezia ebatiza abaana abato n'ategeeza nti omwana tomala kumulinda kwesalirawo kumuwa linnya lya kika kya kitaawe.

Okubatiza abaana
Mukuyigiriza kwe, Ssebayiga yategeezezza nti Yezu yalagira okuleka abaana abato okudda gy'ali nga olw'okuba abaana bakula na bazadde baabwe bo bennyini kibakakatikako okubakuliza mu kukkiriza.
Yagasseeko nti abazadde bwebabeera bategedde ekituufu balina okukyagala n'okukyagazisa abalala n'akuutira abazadde bulijjo okubeera eky'okulabirako mukwogera ne mubikolwa okusobola okukuliza abaana baabwe mukutya Katonda nga babaagazisa eddiini n'okusaba.
Msgr Ssebayiga akuutidde aba Kristu okubeera abamazima nga Kristu bweyagamba nti amazima galibafuula ab'eddembe.