Amawulire

Msgr Mugambe owa Klezia ya Yesu Kabaka ajaguzza emyaka 100

Omusaserdooti asinga obukadde mu ssaza ekkulu ery’e Kampala. Munsennyooli Joseph Mugambe akoonodde emyaka 100 egy’obukulu, n’emyaka 70 mu Busaserdooti, Omukolo ogw’okwebaza gw’abadde mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala, ku Ssande, nga November 23.

Msgr Mugambe ne ba faaza abalala
By: Mathias Mazinga, Journalists @New Vision

Omusaserdooti asinga obukadde mu ssaza ekkulu ery’e Kampala. Munsennyooli Joseph Mugambe akoonodde emyaka 100 egy’obukulu, n’emyaka 70 mu Busaserdooti, Omukolo ogw’okwebaza gw’abadde mu Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala, ku Ssande, nga November 23.

Kkwaya ng'eyimba mmisa

Kkwaya ng'eyimba mmisa

Mmisa y’akulembeddwa Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paulo Ssemogerere, ng’ali wamu ne Bwanamukulu w’ekigo kino, Msgr. Gerald Kalumba, Viika Genero Msgr. Rogers Kabuye, n’Abasaserdooti abalala bangi.

Mukuyigirizaakwe, Ssabasumba Ssemogerere yebazizza Katonda olw’ekirabo ky’obulamu obulungi bweyawa Msgr. Mugambe, ate n’ebitone eby’enjawulo byeyamubunduggulako, ebimusobozesezza okuweereza obulungi abantu ba Katonda.

Kubitone eby’emjawulo Katonda byeyawa  Msgr. Mugambe, Ssabasumba Ssemogerere y’anokoddeyo  eky’okukanika mmotoka, okuvuga Kalakita, okuzimba, okubajja, okuyigiriza ekigambo kya Katonda, okuwa ensirika, n’okwejjusisa abantu. Y’ayongedde n’amusiima olw’okuwaayo ssente ze, nabajjisa bunnamulondo okutuuzibwa Yezu ali mu Ostensario, ate n’abubunya mubigo byonna eby’essaza.

Msgr Mugambe nga bweyali mu buto

Msgr Mugambe nga bweyali mu buto

Ssabasumba y’asiimye Msgr. Gerald Kalumba n’Abakristu bekigo kya Yezu Kabaka olwokulabirira obulungi Msgr. Mugambe, n’abasaba bongere okumusabira, kubanga kumyaka 100 gy’alina, ye Musaserdooti asinga obukulu mu ssaza, ng’addiriddwa Kalidinaali Emmanuel Wamala ow’emyaka 99.

Msgr. Mugambe y’asabye Abakristu banyweze okukkiriza n’okwagala Krstu kweyabawa, ate batambulire wamu naye abatuuse mu ggulu.

Msgr Mugambe nga bw'afaanana

Msgr Mugambe nga bw'afaanana

Ab’oluganda lwa Msgr. Mugambe bangi, okwabadde Sr. Maria Namugambe, ne Sr Claire Thaddeus Nabikolo, nabo beetabye kumukolo guno.

Kumukolo guno gwegumu, ekigo kya Yezu Kabaka mu Kampala kwekyajagulizza olunaku lwa Yezu Kabaka omuwolereza waakyo, n’emyaka 95 bukya kibangibwawo.

Mungeri eteri y’abulijjo, waliwo Abakristu abakoleredde ennyo ekigo kino,  abaasiimiddwa.

Faaza Mugambe nga bamusabira omukisa

Faaza Mugambe nga bamusabira omukisa

Kubano kwabaddeko Omugenzi Henry William Ssentoogo ayakuba ppulaani ya Klezia empya, mukyalawe Mildred Warugaba, Bassabakristu abaawummula Okuli JC Ssekatawa ne John Walusimbi, Deo Kasozi Walukaali n’omukyala, omugenzi Solome Walusimbi, Augustine Bweragura, Deo Nkuzingoma, Annunciata Ssebuggwawo, n’abalala.

Tags: