Amawulire

Poliisi eri mu kubuuliriza ku bantu abagambibwa okwambala emijoozi gy'abesimbyewo ne banyaga bantu

POLIISI eri mu kubuuliriza ku bigambibwa nti waliwo ababbi abettanira okwambala emijoozi gy'abamu ku beesimbyewo ng'abawagizi baabwe, n'ekigendererwa eky'okubba.   

Poliisi eri mu kubuuliriza ku bantu abagambibwa okwambala emijoozi gy'abesimbyewo ne banyaga bantu
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI eri mu kubuuliriza ku bigambibwa nti waliwo ababbi abettanira okwambala emijoozi gy'abamu ku beesimbyewo ng'abawagizi baabwe, n'ekigendererwa eky'okubba.

Kitegeezeddwa nti ekibinja ky'abavubuka bano, befuula abawagizi nti kyokka ne bakola eggaali , mwe banyagira amasimu, ssente , obusawo ne kalonda omulala.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, alabudde ebikwekweto ku bantu bano era n'asaba abantu okubeera abagendereza.

Annyonnyodde nga bwe bali mu kulodoola era ebibinja by'abantu abeefunyiridde okuyuza n'okwonoona ebipande byabannabyabufizi n'agamba nti musango gwannaggomola.

Ebirala by'anokoddeyo, mwe muli abantu abeeyongedde okukoza obubi emitimbagano mu by'obufuzi, okutyoboola amateeka g'okunguudo n'ebirala.

Tags: