Mmotoka ewabye n'egwa mu mazzi 5 ne bafiirawo e Buyende

EKIKANGABWA kigudde e Buyende, abantu bataano mmotoka bw'ebasudde mu mazzi bonna ne bafa.

Mmotoka ewabye n'egwa mu mazzi 5 ne bafiirawo e Buyende
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Buyende #Mmotoka #Kufa #Kufiirawo

EKIKANGABWA kigudde e Buyende, abantu bataano mmotoka bw'ebasudde mu mazzi bonna ne bafa.

Akabenje kabaddewo mmotoka nnamba UBD 160 F ebaddemu abantu bataano ng'eva  ku mwalo gw'e Lyingo okudda e Irundu, bw'etuuse awali akagga akabadde kanjaddemu amazzi ku luguudo olwo, mmotoka kwe kugwa mu mazzi ne bafiirawo.

Mmotoka eyafunye akabenje

Mmotoka eyafunye akabenje

Abafudde , kuliko Sebuliba Musudi 32, Ayubu Mua 29, Ben Ndikola 24 , nga bano b'e Kaliro ,  Wilberforce Wamuseke 31 ow'e Gumpi, ne Evelyn Kyalisiima 25 nga w'e Lyantonde.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Micheal Kasadha, ategeezezza nti bonna ababadde mu mmotoka, babadde batamidde nga kye kiyinza okuba nga kye kivuddeko akabenje ku ludda lwa ddereeva.

Wano nga baakaginnyululamu.

Wano nga baakaginnyululamu.

Agasseeko nti emirambo gitwaliddwa mu ggwanika n'emmotoka n'etwalibwa ku poliisi y'e Kagulu, ng'okubuuliriza ku kivuddeko akabenje, bwe kukolebwa.