SSABAWOLEREZA w’Obwakabaka bwa Buganda,Christopher Bwanika agambye nti buvunanyizibwa bwa buli muntu waali okutumbula Olulimi Oluganda kubanga mwe mukuumiddwa ennono n’obuwangwa bw’abantu.
Bwanika ategezezza nga Kabaka saako ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bakubiriza abantu okuyigiriza abaana abato okwongera Oluganda okuva nga bakyali bato ng’eyo y’engeri yokka gyerujja okukula.
Okwogera bino abadde atongoza omwoleso gw’ebyenjigiriza ogutegekeddwa Ekibiina Ky’olulimi Oluganda (EKO) e Bulange-Mmengo leero n’abulira abantu nti tewali ngeri yonna gyebayinza kudduka ku lulimi Oluganda kubanga buli omu mu nsi ayayaana kukulakulanya nnimi enzaliranwa.
Mu nteekateeka eno,Obwakabaka bukolaganye ne Stanbic bbanka ng’eno ewaddeyo ensimbi obukadde 20 okuvujjirira omwoleso guno era ng’amyuka akulira emirimu mu bbanka eno,Emma Mugisha yategezezza nga bwebagenda okusomesa abantu engeri gyebayinza okufunamu ensimbi ezibayamba mu nsomesa y’abaana baabwe.
Buganda,Christopher Bwanika ng'alaga ssente ezibaweereddwa abavujjirizi
Omwoleso gwakubeerawo nga January 21-22,2023 mu Butikkiro Tourism Centre-ekifo awali ekitebe ky’ebyobulambuzi mu Buganda ku Butikkiro mu maaso g’Olubiri e Mmengo nga guli wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Nange kansome’ nga buli anajja mu mwoleso guno wakuguvaamu ng’aliko kyayize.
Fred Kisiriko Lukabwe nga ye Ssentebe w’Ekibiina Ky’olulimi Olugenda ategezezza ng’eno bweri ensisinkano wakati w’abazadde,abaana n’abasomesa okwogera ku by’ensoma y’abaana baabwe ebibatwala mu maaso.
Lukabwe agamba nti enteekateeka eno eri wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Nange kansome’ nga buli anajja mu mwoleso guno wakuguvaamu ng’aliko kyayize.
Buganda,Christopher Bwanika ng'abuuza ku bantu
Ye Kamisona w’ebyenjigiriza mu Uganda eyawummula Dr.Mukasa Lusambu ategezezza nti omwoleso guno gwakuwa abantu omukisa okumanyaebyo ebiri mu nteekateeka y’ebyensoma empya ng’ekisinga obukulu essira eritadde ku kugunjula abaana abakozi nga bwebataasobole kuyiga kukola,ensi gyetugendamu ejja kubaleka.
Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda olukulu,Damas Mulagwe Mayanja asinzidde wano n’asaba gavumenti eyawakati okuteeka amaanyi mu kutumbula ennimi ennansi n’awa eky’okulabirako ku ky’agamu ku massomero amanene agatasomesa Luganda ng’ate gafulumya abayizi ate abajja okugenda wansi okukolera mu bantu aboogera Oluganda.