Amawulire

Mmengo esabye Gav't okuduukirira abaakosebwa amataba mu Kampala

MMENGO esabye gavumenti okudduukirira n'okuliyirira abasuubuzi abaafiirwa ebyamaguzi byabwe mu mataba agaagoya Kampala wiiki ewedde.

Katikkiro ng'ayogera eri bannamawulire mu Bulange e Mmengo
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

MMENGO esabye gavumenti okudduukirira n'okuliyirira abasuubuzi abaafiirwa ebyamaguzi byabwe mu mataba agaagoya Kampala wiiki ewedde.

Mmengo okuyita mu Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga egamba nti ebitundu nga Bugishu, Rwenzori bizze bifuna ebibamba okuli okubumbulukuka kw'ensozi ate n'amataba era gavumenti nevaayo neebaddukirira nga kisaanye kikolebwe ne ku Bannakampala bano.

Katikkiro ng'ali mu lukungaana lw'abannamawulire

Katikkiro ng'ali mu lukungaana lw'abannamawulire

" Twaniriza enteekateeka ya gavumenti eyawakati okuvaayo okuyamba n'okuliyirira bonna abaakoseddwa. Nnina essuubi nti gavumenti erina obusobozi buno kubanga nga ssente ez'ebyobufuzi bufunika mangu ate olwo zino ezitayinza kuba nnyingi," Mayiga bweyasabye bweyabadde ayogerako eri Bannamawulire ku Lwokuna e Bulange.

Mayiga era yategeezeezza ng'Obwakabaka bwebuwagira enkulakulana mu kibuga Kampala kyokka n'awabula nti ng'ekolebwa erina okuyita mu mitendera emituufu n'alambika nti bwokola ekintu ekituufu mu nkola enkyaamu, kifuuka kibi eri awo wekibeera kikoleddwa.

" Obwakabaka tuwagira enkulakulana mu kibuga naye tusaba nti bwabeera ekolebwa, kisaanye etambulire mu mitendera emituufu, egoberere obuwabuzi bw'abakugu. Eggwanga lirina abakugu bangi mu kuzimba mu bifo by'amazzi, abo bonna beetaaga okusooka okwebuuzibwako kubanga bwokola ekintu ekirungi okuyita mu mitendera egitali mutuufu, kifuuka kibi," Mayiga bweyayongeddeko.

Mayiga mu ngeri y'emu yatuusizza okusasira okuva mu Bwakabaka eri abantu abafiriddwa enganda zaabwe saako naabo abaafiriddwa emmaali mu mataba gano agaagoya ennyo ekitundu ky'omwala gwe Nakivubo mu Kampala.

Katikkiro ng'ayogera eri bannamawulire

Katikkiro ng'ayogera eri bannamawulire

Katikkiro Mayiga yagambye nti bangi ku baafiriddwa ebintu bavubuka, bebaze bakubirizibwa okwetanira okukola era abawadde amagezi nti nga bwebakyalinda obuyambi bwa gavumenti, basaanye okusigala balina essuubi, bavumu era abakakkamu nti embeera mwebali, Katonda ajja kusobola okugibayisaamu.

" Gavumenti era tugisaba okukolagana obulungi n'Obukulembeze bw'abasuubuzi okuyita mu bibiina byaabwe nga KACITA okumanya abo benyinni abalina okuliyirirwa. Kino kyakuyamba enteekateeka eno obutabeeramu mavuunya gonna; abo abatuufu abaakosebwa bayambibwe, kubanga ebizimbe ebyakosebwa bimanyiddwa saako n'amataba gano gyegaakosa wamanyiddwa," Mayiga bweyasabye.

Mu lukungana luno Katikkiro abadde ne Baminisita Israel Kazibwe Omwogezi w'Obwakabaka ate ne Noah Kiyimba Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n'abagenyi era avunanyizibwa ku nsonga z'enkizo mu ofiisi ya Katikkiro wa Buganda.

Tags: