Amawulire

OMUSAJJA  abadde avuga eggaali, mmotoka emutomedde n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro

OMUSAJJA  abadde avuga eggaali, mmotoka emutomedde n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro

OMUSAJJA  abadde avuga eggaali, mmotoka emutomedde n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMUSAJJA  abadde avuga eggaali, mmotoka emutomedde n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro.

Akabenje kano , kabadde Girigiri ku luguudo oluva e Musita okudda e Lumino mu bitundu by'e Mayuge, mmotoka ekika kya Ipsum nnamba UAU 549 C ng'avugibwa omuntu atannamanyika, bw'etomedde owakagaali Bumali Kakaire Nunguli 31 n'afa.

Abadde mutuuze w'e Bwawula mu Ggombolola ye Immanyiro mu disitulikiti y'e Mayuge , era nga kigambibwa nti avudde ku mukono gwe okudda ku mulala, mmotoka gy'emusanze n'emutomera.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, ategeezezza nti  afiiridde mu ddwaaliro lya Mayuge Health centre 4 era nga mu kiseera kino, mmotoka ekuumirwa ku poliisi e Mayuge kyokka ng'eggaali y'omugenzi , bagibbidde mu kifo awabadde akabenje.

Tags: