Abayizi abakaramoja beerisizza nkuuli ku Yunivasite ya ISBAT bwebakoze obulungi ne babeera abamu ku basinze mu kutikirwa omwaka guno okw'omulundi ogwe 18.
Byogeddwa Pulof. Mathew Kattampackal, amyuka Cansala wa ISBAT Yunivasite bw'abadde mu lukungaana lw'abamawulire ku ISBAT e Lugogo pass.
Kattampackal agambye nti, omulundi guno bagenda kutikkira abayizi abasoba mu 700 nga ku bano ebitundu 75 ku 100 ba bannayuganda ate abasigadde bava mu nsi ez'enjawulo.
Ono agamba nti omulindi guno ISBAT egenda kuba etikkira omulindi gw'e 18 ku lw'okusatu lwa wiiki ejja wabula abayizi ebitundu 55 ku 100 bafunye first class diguli, nga ku bano luliko abayizi okuva e Karamoja ebitundu 19 ku 100 mu nkola ya yaabwe eyokuyambako abayizi ababa mu bitundu ebizibu gyebatuuma Karamoja Scholarship program, eyambibwako gavumenti okukwata ku baana b'e Karamoja okusoma ng'ebaweerera ku univasite eno.

Pulof Kattampackal wakati VC, asooka ku kkono ye Dr Kumar Pradeep director academic affairs, owookubiri ku ddyo Dr Paul Giju academic registra ne Dr Tyagi Vaibhav dean faculty of ICT mu lukungaana lwa bannamawulire
Okutikkira kw'omulundi guno, kugenda kubaamu n'abafunye amabaluwa ga UBTEB.
Dr. Peter Mbabazi Mbazize, Dean wa faculty ya Business and Commerce agamba abayizi baabwe babatendese bulungi mu bukodyo obwetaagisa mu nsi y'emirimu ne tekinogiya era bakugu bulungi.
Dr. Paul Giju, academic registra wa ISBAT agambye nti, amasomo ga tekinologiya bagongeddemu amaanyi kuba kati ensi geyetaaga, n'ategeeza nti ISBAT erina enkola yomuyambako abayizi eyabscholarship era ekoze kinene okuwa bangi omukisa okusoma. Nga tekinologiya baamutadde ku mwanjo nyo okutumbula eggwanga n'ensi yonna.
Ensi ezisoba mu 30 ezirina abayizi ku univasite eno baakwetaba mu kutikkirwa kw'omulundi guno