OMUKYALA omu afiiriddewo n'omusajja n'atwalibwa mu ddwaaliro ng'ali mu mbeera mbi, ekizimbe ekibadde kiri mu kuzimbibwa, bwe kibagwiridde e Katwe.
Afudde ye Shamilah Mastula Nvannungi 32 ate omusajja omulala abadde omukozi n'alumizibwa, ekizimbe kino ekibadde ekyamyaliiro Etaano bwe kibagwiridde.
Enjega eno, ebadde mu zooni y'a Kayanja mu Ndeeba mu Municipality y'e Rubaga mu Kampala era ng'ekizimbe kigambibwa kya Medy Nakibinge.
Omusango gw'obulagajjavu, guguddwawo ku poliisi eri ababadde ku mulimu gw'okuzimba ne nnyini kizimbe, okuzuula oba nga babadde balina obukugu n'okumanya oba nga ddala ebikozesebwa bibadde ku mutindo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago okugwekebejja ng'okunoonyereza, kugenda mu maaso