OMUVUZI wa tulakita e Bugweri, attiddwa mu ntiisa omulambo gwe ne bagusuula mu mwala , poliisi mw'egusanze.
Kiriwoozebwa okuba ng'omusajja ono Yusufu Matega 54, omutuuze w'e Idudi town e Bugweri, abadde atambulira ku pikipiki erowoozebwa okuba nga abamusse, bagitutte.
Ettemu , libadde Buwabe mu Ggombolola ye Ibulanku e Mayuge era ng'omulambo gwe, gusangiddwa mu mwala ku luguudo oluva e Butaba okudda e Buwabe.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kasadha, agambye nti batutte embwa za poliisi ezikonga olusu, nti naye tezirina kyezizudde.
Agasseeko nti omulambo gubaddeko enkwagulo n'ebiwundu era nga mu kifo we bamuttidde, wasangiddwawo obulabirwamu obwatise nga kiriwoozebwa nti buvudde ku pikipiki nga balwanagana.