Amawulire

Abatemu abatannamanyika, bafumbikirizza omutuuze abadde agenda mu kabuyonjo ne bamutemaatema ne bamuttirawo.

Abatemu abatannamanyika, bafumbikirizza omutuuze abadde agenda mu kabuyonjo okwetewuluza, ne bamutemaatema ne bamuttirawo.

Abatemu abatannamanyika, bafumbikirizza omutuuze abadde agenda mu kabuyonjo ne bamutemaatema ne bamuttirawo.
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abatemu abatannamanyika, bafumbikirizza omutuuze abadde agenda mu kabuyonjo okwetewuluza, ne bamutemaatema ne bamuttirawo.

Bibadde ku kyalo Kalagala e Luweero, abatemu bwe basse Eliab Makumbi 58 omulambo ne baguleka mu nnimiro y'emmwaanyi okumpi ne Kabuyonjo. 

Kigambibwa nti Makumbi abadde akola ogw'obulimi ,yava Nakaseke okusenga e Kalagala.

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Tweaniimazima, agambye nti ono yafulumye ekiro okugenda okweyamba n'atakomawo, enkeera kwe kumusanga mu nnimiro y'emwaanyi ng'attiddwa. 

Asabye abo bonna abayinza okuba nga bamanyi ku kiviiriddeko okuttibwa kwa Makumbi, okutuukirira poliisi bagiroopere.

Tags: