Mmeeya Mugambe alabudde abazimba mu nguudo

ABATUUZE   balabuddwa bulijjo okukomya  okuzimba ebizimbe mu bibangirizi by’enguudo  nga omu ku kawefube w’okubanguyiza obuweereza  singa babeera babwetaaze.Okulabula kuno kukoleddwa meeya wa munisipaali ye Nakawa Paul Mugambe bw’abadde akulembeddemu okuddaabiriza oluguudo  olusangibwa  e Mbuya mu zooni ya Kaggo.

Mmeeya Mugambe ng'ali ku bazimba enguudo
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

ABATUUZE   balabuddwa bulijjo okukomya  okuzimba ebizimbe mu bibangirizi by’enguudo  nga omu ku kawefube w’okubanguyiza obuweereza  singa babeera babwetaaze.

Okulabula kuno kukoleddwa meeya wa munisipaali ye Nakawa Paul Mugambe bw’abadde akulembeddemu okuddaabiriza oluguudo  olusangibwa  e Mbuya mu zooni ya Kaggo.

Mugambe ategeezezza nti kikyamu nnyo abantu  okuzimba mu  makubo kubanga gabeera gafunda nga tegasobola kuyisa bidduka binene ng'emmotoka eziyinza okuzikiriza omuliro singa gubeera gukutte ne ambyulensi singa wabeerawo obuzibu bwonna.

Ngu 4

Ngu 4

Asabye abantu okukwatagananga n’abekitongole kya KCCA nga tebannaba kuzimba bizimbe byabwe kibayambeko okuzimbiranga  ku pulaani entuufu.

Mugambe ategezezza nga oluguudo luno bwerubadde lumaze ebbanga nga luli mu mbeera mbi nnyo ate nga lwa mugaso nnyo eri abatuuze mu kitundu kino kubanga lugtta enguudo enkulu bbiri okuli olwa Kinawattaka ne  Robert Mugabe Road nga luyambako mu kukendeeza ku kalippagano k’ebidduka.

Asabye bantu okwongera  okukuumanga obulungi kasasiro nga tebamuyiwa mu myala kiyambeko okukuuma enguudo nga tezonoonese.

Ngu 8

Ngu 8

Tonny Kavuma Ssentebe wa Kaggo Zooni asiimye nnyo meeya okubakolera oluguudo luno kyokka  n’asaba abatuuze okwenyirira mu bulungibwansi basobole okukuuma ekitundu nga kiyonjo.

Abatuuze nga bakulembeddwamu  Musa Abale bategeezezza nga bwebagenda okukolaganira awamu okukuuma obulungi  enkulaakulana y’ekitundu kyabwe