ABATUUZE balabuddwa bulijjo okukomya okuzimba ebizimbe mu bibangirizi by’enguudo nga omu ku kawefube w’okubanguyiza obuweereza singa babeera babwetaaze.
Okulabula kuno kukoleddwa meeya wa munisipaali ye Nakawa Paul Mugambe bw’abadde akulembeddemu okuddaabiriza oluguudo olusangibwa e Mbuya mu zooni ya Kaggo.
Mugambe ategeezezza nti kikyamu nnyo abantu okuzimba mu makubo kubanga gabeera gafunda nga tegasobola kuyisa bidduka binene ng'emmotoka eziyinza okuzikiriza omuliro singa gubeera gukutte ne ambyulensi singa wabeerawo obuzibu bwonna.
Ngu 4
Asabye abantu okukwatagananga n’abekitongole kya KCCA nga tebannaba kuzimba bizimbe byabwe kibayambeko okuzimbiranga ku pulaani entuufu.
Mugambe ategezezza nga oluguudo luno bwerubadde lumaze ebbanga nga luli mu mbeera mbi nnyo ate nga lwa mugaso nnyo eri abatuuze mu kitundu kino kubanga lugtta enguudo enkulu bbiri okuli olwa Kinawattaka ne Robert Mugabe Road nga luyambako mu kukendeeza ku kalippagano k’ebidduka.
Asabye bantu okwongera okukuumanga obulungi kasasiro nga tebamuyiwa mu myala kiyambeko okukuuma enguudo nga tezonoonese.
Ngu 8
Tonny Kavuma Ssentebe wa Kaggo Zooni asiimye nnyo meeya okubakolera oluguudo luno kyokka n’asaba abatuuze okwenyirira mu bulungibwansi basobole okukuuma ekitundu nga kiyonjo.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Musa Abale bategeezezza nga bwebagenda okukolaganira awamu okukuuma obulungi enkulaakulana y’ekitundu kyabwe