OLUVANNYUMA lwa Hannah Karema Tumukunde okuwangula engule yo’bwanalulungi, bangi bagamba nti Karema mukazi w’omuyimbi Eddy Kenzo. Abalala bagamba nti ayina abayimbi ab'enjawulo bazze aganza.
Wabula, Hannah bwabade ayogerako ne Bukedde, ebyeganye n'agamba nti Eddy Kenzo Mukwano gwa Fammire ye naye ate tamwagalaNgako.
“Eddy Kenzo nnamutegeerera ku baganda bange kubanga mukwano gwabwe nyo. Ssagalangako muyimbi yenna. Nkyali mwana muto. Sinalowoza ku byakugwa mu mukwano.” Hannah yayogedde.
Tumukunde agamba nti abantu bamuyita kyatali naye sibwali. akabanga bwekanaayita, Bajja kumanya nti muntu w'abantu ate nga ayagaliza. Nebwomwogerera ebisongovu n'omuvuma, akuyitako n'akuubuzaako nga alina akamwenyomwenyo.
“Abantu boogera, kili kugwe nga omuntu okumanya engeri gyonakikwasaganyamu. Mu bulamu, tewetaga kukasa bantu kubanga buli bwogezako okukikola, welumya wekka.”