Amawulire

Abavubi basabye Gavumenti okussaawo amateeka agalungamya  eby'obugagga ebigabanyizibwa  amawanga g'obuvanyuba bwa Africa

ABAVUBI bawanjagidde gavumenti ya Uganda okuyita mu mukago gwa mawanga g’obuvanjuba bwa Afrika okubaga amateeka agalungamya enkozesa y'ebyobugagga ebigabanibwa amawanga gano.  

Omukungu ng'annyonnyola
By: Teopista Nakamya, Journalists @New Vision

ABAVUBI bawanjagidde gavumenti ya Uganda okuyita mu mukago gwa mawanga g’obuvanjuba bwa Afrika okubaga amateeka agalungamya enkozesa y'ebyobugagga ebigabanibwa amawanga gano.

Mu lukungaana olw'okubaganya ebirowoozo ku nkozesa y'ebyobugagga ebigabannibwa nga ennyanja Nnalubale, L. Albert, olutegekeddwa  ababaka abatula ku Uganda parliarmentary alliance on food and nutrition security’ wamu n’ekitongole ky’obwannakyewa  ekirwanirira eddembe lya bantu okufuna emmere emala ezimba omubiri (Fian Uganda).

Akulira okuteekerateekera Fian Uganda, Shafiq Kagimu yasoose kutegeeza nti bazudde nga ennyanja Nnalubale egabanibwa ensi Uganda, Kenya ne Tanzaniya mu nsonga z’obuvubi naye nga amateeka g’okuvuba buli omu alina gage ekinyigiriza abavubi.

Ebyenyanja yagambye byamugaso mu mubiri gw’omuntu so nga bisitula n’ebyenfuna byeggwanga nga ennyanja nnalubale evamu taniizi z’ebyenyanja 30,000 ezibalirirwa obuwumbi 585.

Omukungu ng'annyonnyola

Omukungu ng'annyonnyola

Obuvubi yalaze nti bwamugaso nnyo nga ebitundu 60 ku buli kikumi ebya bakyala abawangalira ku bizinga bayimiriddewo ku kutunda mukene nga kyetaagisa amateeka agafuga okuvuba mu nnyanja ezigabanibwa gabeere nga gegamu abalala obutanyigirizibwa.

Yawadde ekyokulabirako mu February wa 2024 gavumenti ya Uganda bweyayimiriza abavubi ba mukene okukozesa obutimba obukwata mukene obwa Rwampara kyokka nga bwe bumu obukozesebwa e Kenya ne Tanzania.

Ensi essatu zino, okubulwa amateeka agafaanagana agalungamya ku kuvuba, Kagimu yagambye galeseewo entalo ku nsalosalo zaabwe nga ne mu August wa 2024, abavubi Abannakenya nabo bakwatibwa basaze ensalo ya Uganda lwakukozesa butimba buvuba obutakkirizibwa

Ebitundu ebimu awavubibwa empuuta yagambye nti kati baguzaawo bamusigansimbi nga abavubi ababulijjo okusalimbirayo musango.

Okwewala okutyoboola eddembe lya bavubvi ku nnyanja, yasabye amateeka nga gakolebwa abavubi bebuuzibweko nga nebwebabeera basazeewo nti maggye gegalina okuuma ennyanja kubeereko abakiikirira .

Omukugu mu kunoonyereza ku byenyanja, Dr. Anthony Taabu Munyaho okuva mu Natonal fisheries resources research institute yategeezezza nti okumalawo emiwatwa ku nvuba yebyenyanja nenkozesa yayo wakati wa mawanga asatu wetaaga etteeka limu eririna okugobererwa.

Sayizi y’obutimba obukozesebwa mu kuvuba mukene nayo yetaaga okukaanyizibwako enkozesa ya Sola ku nnyanja etakkiirizibwa mu Uganda n’ebiringa ebyo..

Ebirina okutunuulirwa nga batema empenda okumalawo obukuubagano, nga etteeka libagibwa yagambye nti abatuuze abawangaalira ku nnyanja n’ebizinga betaaga okwebuuzibwako.     

Ebya buli ggwanga  okubeera n’amaggye gayo agalwanyisa envuba embi  ku nnyanya yagambye tebija kukola nga kijakubetaagisa okugatta amaanyi babeere ne tiimu emu.

Ababaka okuva mu mawanga agenjawulo nga erya Democratic republic of Congo basuubizza okutuusa okusaba kuno eri gavumenti yabwe

Tags: