Aba yunivasite ya International Business, Science and Technology (ISBAT) esiimiddwa okubeera univasite esinze mu kusomesa amasomo agayamba okutuukiriza ebigendererwa by'eggwanga ebya Vision 2040.
Engule yabakwasiddwa omumyuka womukulembeze w'eggwanga Rtd Left Jessica Alupo ku mukolo gw'empaka za Visionaries of Uganda Awards ogwabadde ku woteeri ya Serena ku lw'okuna.

Omumyuka wa Pulezidenti Jesca Alupo ng'ayogera
Dr. Kumar Pradeep Dayorelita webyenjigiriza ku ISBAT univasite asiimye engule eyabaweereddwa n'ategeeza nti, ISBAT yaakwongera okutuusa enyenjigiriza ebirungi eri bannayuganda mu masomo ag'enjawulo naddala.mu STEM, saayansi, tekinologiya, bizinensi okunoonyereza n'ebirala, baasobole okutendeka omuyiza aweeka emirimu nabo abaasobola okutandikawo egyabwe n'okwongera ku ggwanga lyaffe Uganda.

Omumyuka wa Pulezidenti Jesca Alupo ng'ali n'abamu ku basiimiddwa
Alupo yakuutodde bannayuganda okwagala ennyo ensi yaabwe nga baakola ebyo ebijitwala mumaaso neyeebaza ISBAT na bonna abaawangudde mu mpaka zino.
N'ebitongole ebirala bingi eby'enjawulo byasiimiddwa ku nsonga ez'enjawulo mwabadde; eddwaaliro ly'e Mulago, Jinja Schools of Nursing, eddwaaliro ly'e Mengo, Heifer, aba Bukoola Chemical industries abakola eddagala ly'ebirime n'abalala bangi