Amawulire

Poliisi e Kamuli eri mu kuyigga abatemu a bayingiridde owa mobile money ne bamufumita ebiso ebimusse

Poliisi e Kamuli eri mu kuyigga abatemu a bayingiridde owa mobile money ne bamufumita ebiso ebimusse  ne bakuuliita n'e ssente ezitamanyiddwa muwendo awamu n'amasimu. 

Poliisi e Kamuli eri mu kuyigga abatemu a bayingiridde owa mobile money ne bamufumita ebiso ebimusse
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Poliisi e Kamuli eri mu kuyigga abatemu abayingiridde owa mobile money ne bamufumita ebiso ebimusse  ne bakuuliita n'e ssente ezitamanyiddwa muwendo awamu n'amasimu. 

Obulumbaganyi bubadde ku kyalo Butamo zooni mu Busota ward mu Southern Division e Kamuli. 

Ku ssaawa nga ssatu ez'ekiro, kigambibwa nti abasajja basatu nga balina ebiso, bayingiridde owa mobile money omukyala ow'emyaka 31 ne bamufumita. 

Oluvannyuma babuzeewo ne ssente n'ebintu kyokka omukyala afudde bakamutuusa mu ddwaaliro e Kamuli. 

Omwogezi wa poliisi mu Busog North, Samson Lubega, agambye nti omuyiggo gw'ababbi, gukolebwa

Tags: