Amawulire

Omwana ow'omwaka agumu afiiridde mu muliro

Omwana ow'omwaka agumu, afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde ne muganda we ow'emyaka ena.

Omwana ow'omwaka agumu afiiridde mu muliro
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omwana ow'omwaka agumu afiiridde mu muliro ogukutte ennyumba mwe babadde ne muganda we ow'emyaka ena. 

Ye muganda we , asobodde okusimattuka era poliisi etandise okubuuliriza ku kivuddeko omuliro ogusse omwana ono . 

Bino, bibadde mu zooni ya Ssemwogerere  mu Bukoto one parish e Nakawa munisipality, omuliro bwe gukutte ennyumba ya Simon Semwogerere ne gutta omwana Evelyn Najjuma. 

Kigambibwa nti Najjuma ne muganda we ow'emyaka ena, nnyina, abadde abalese mu nnyumba okugenda ku taapu okusena amazzi, omuliro wegukwatidde ne gutta Najjuma omulala n'a
asobola okufuluma nga mulamu. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags: