Abayizi ba IUEA abatikkiddwa bakoze ekyuma ekigatta omutindo ku birime.
Abayizi ku ssetendekero wa International University of East Africa (IUEA) ababadde basoma ebya engineering bakoze ekyuma ekisabika ebyamaguzi naddala ebiva mu birime.
Ekyuma kino kyakukyusa engeri bannayuganda gyebabadde basabikamu ebyamaguzi byabwe ebyettunzi ekibadde kibalemesa okufuna akatale kensi yonna.
Ekyuma kino kyayanjuddwa ku mattikira ga university eno agomulundi ogwe 12 olunaku lweggulo nga kino kyayogeddwako nga ekigenda okugatta omutindo ku byamaguzi saako nobuyonjo.

omu ku batikkiddwa ng'alaga engule
Ekyuma kigenda kuyamba okusabika ebyamaguzi ebirime omuli kasooli, ebinyeebwa, ebibala nebirala okusobola okubikuuma nga biyonjo nokuwangaala nga tebivunda.
Okusinziira ku bayizi bano tekinologiya eyakozeseddwa okuzimba ekyuma kino Talina bulabe ku bulamu bwabantu ate nga tekijja kuba kyabuseere nga nekisinga obukulu kyakusabika ebyamaguzi ebiwerako ekigenda okwanguyiza abasuubuzi, abalimi nabobukolero obutonotono obulamu.
Abakugu abeekenenyezza ekyuma kino baagambye nti kyakukendeeza ku nsimbi bannayuganda zebabadde basaasanyiza mu kugula ebyuma ebikola omulimu gwegumu okuva wabweru weggwanga
Amyuka ccansala wa IUEA Prof. Emeka Akaezuwa yategezezza nti tekinologiya ono atuukaganira ddala ku biruubirirwa byeggwanga ebyokugatta omutindo ku birime nokwongera ku muwendo gwebyamaguzi ebikolebwa bannayuganda nga biva mu birime.

Omu ku batikkiddwa nga bamukwasa engule
“IUEA yeyasooka okussa tekinologiya wa Artificial intelligence mu bisomesebwa mu ggwanga mu 2015, nolwekyo tuzze tuzimba ebyuma ebiwerako nga bino bikendeezezza ku muwendo gwebyuma ebiva ebwer weggwanga” emeka bweyagambye.
Nga ogyeeko ekyo ccansala yategezezza nti ekyuma kino kigenda kufunira abavubuka abawerako emirimu okuva mu kukamula, okutuusa okutambuza ebyamaguzi mu butale.
Prof. Akaezuwa yabikudde ekyama kya university kyerina okukola ebyuma ebiwerako mu ngeri eya digital nga baakutandika okuweesa ebyuma bitaano buli lunaku nga bino byakweyongerangako okusinziira ku bwetaavu bwabyo.
Mu biseera ebyomumaaso basuubira okuweesa ebyuma ebyokutunda wabweru weggwanga wabula nga basoose kutunuulira kuweeseza katale ka Uganda