Amawulire

Abantu basatu bafiiridde mu muliro ogukutte abbajjiro, ebbaala n'amayumba mu Ndeeba

OMULIRO ogutannategeerekeka kweguvudde gukutte amabaala, amayumba, amabajjiro, garagi mu Ndeeba bya buwumbi ne bisaanawo n'abantu abasoba mu 3 ne bafuuka bisiriiza.

Abantu nga bakung'aanidde awakutte omuliro
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

OMULIRO ogutannategeerekeka kweguvudde gukutte amabaala, amayumba, amabajjiro, garagi mu Ndeeba bya buwumbi ne bisaanawo n'abantu abasoba mu 3 ne bafuuka bisiriiza.

Ewabadde omuliro omuliro

Ewabadde omuliro omuliro


Enjega Eno yagguddewo ku ssaawa munaana ez'ekiro ekikeesezza leero lwokutaano mu Zooni ya Kajumbi mu Ndeeba, nga kigambibwa nti gwatandikidde mu bbajjiro ne gusasaanira ekifo kyonna.
Ekifo awakutte omuliro wabadde amayumba g'abapangisa, amabaala, amabajjiro g'ebibajje eby'enjawulo, garagi, loogi.

Ennyumba nga zisamnyeewo

Ennyumba nga zisamnyeewo


Kennedy Sseruyombya abadde n'ebbaala n'enyumba esulwamu nga byonna byasaanyewo agambye nti, rmmaali yonna ebalirirwa mu Bukadde obusoba mu 17 byasaanyewo mu.muliro.omwabadde ne ssente enkalu.

Abasuubuzi ababadde ne bizinensi mu Kifo kino boozezza ku mmumye nga balaba rmmaali yaabwe bwesaanyewo, abantu abafiiriddeu mu muliro guno tebanamanyibwa mannya olw'okuba nti ekifo Kya mugotteko kibeeramu abantu bangi ab'enjawulo abajja ne basula mu bu loogi ne bagenda nga ababadde tebanabategeera bibakwatako.

Ekifo awakutte omuliro

Ekifo awakutte omuliro


Poliisi ezikiriza omuliro yasobodde okutuuka okuzikiza omuliro naye ng'ebintu bya buwumbi na buwumbi byabadde bimaze okusaanawo nga bifuse bisiriiza.
Abantu bakungaanyizza ebisigalira byabajjiiridde mu muliro guno ne babiteeka.mu bukutiya ne babikwasa poliisi.
Basabye poliisi okunoomyereza ku kivaako omuliro guno nga balumiriza nti wandibaawo abagagga abeegwanyiza ekifo lyabwe nga beebasula omuliro guno.
Tags: