MINISITULE y'ebyenjigiriza ebakanye n'eddimu ly'okutumbula eby'enjigiriza by'eggwanga nga besigama ku kunoonyereza wamu n'obukakafu...
Abakugu mu kunoonyereza bagamba kikulu nnyo minisitule y'eby'enjigiriza okukola okusalawo nga yesigama ku byeba efunye mu kunoonyereza ebikakasiddwa so si byeteebereza .

Abakugu mu kunoonyereza wamu mu minisitule yébyenjigiriza wamu nékitongole ki Innovations for Poverty Action (IPA) bakyaliddeko essomero lya Makerere College School nga erimu ku ago ageeyambisa obukakafu (data) okutereeza okusoma n'okusomesa mu ssomero .
Omukulu w'essomero lino Martin Muyingo agamba bakozesa enkola ya Teacher Effectiveness and Learner Achievement System (TELA) okulondoola empeereza mu ssomero mu basomesa , abatali basomesa wamu n'abayizi wadde nga essomero lirina amatabi abiri .
Muyingo ategeezezza nti kibayambye nnyo okulondoola abayizi baabwe okumanya nábasomesa okumanya ani yayingidde ku ssaawa meka era yafulumye meka .
Agamba enkola eno eyambye n'abazadde okumanya enkola y'abayizi entuufu kubanga byonna eby'essomero abazadde babifuna ku kibanja ky'essomero (website) wamu n'okulondoola abaana baabwe mu ssomero n'abasomesa .
Muyingo agamba wadde guli gutyo , bakyasoomozebwa yintatenti oluusi eba ennafu , abakozi mu ssomero okukalubirizibwa okuva ku nkola enkadde okudda ku nkola ya tekinologiya eno wamu nébirala bingi .
Mu mbeera eyo , Muyingo agamba basobola bulungi okumanya ebituli ebyetaaga okuzibikira kubanga enkola yéssomero nambulukufu eri buli muyizi , abakozi , abazadde wamu néminisitule yébyenjigiriza egiroondoola