Amawulire

OMWANA ow'emyaka 3 afiiridde mu nkuba gy'abadde azannyiramu e Luuka.

OMWANA ow'emyaka 3 afiiridde mu nkuba gy'abadde azannyiramu e Luuka.

OMWANA ow'emyaka 3 afiiridde mu nkuba gy'abadde azannyiramu e Luuka.
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMWANA ow'emyaka 3 afiiridde mu nkuba gy'abadde azannyiramu e Luuka.

Afudde ye Hinda Jaiden Ssali ng'abadde abeera ne bazadde be ku kyalo Lukunhu A cell mu kabuga k'e Busalamu mu disitulikiti y'e Luuka.

Kigambibwa omwana ono, yabadde azannyira kumpi n'awaka, kyokka ng'abazadde bali mu lukiiko lwa SACCO mu luggya, nti kyokka enkuba bwe yatandise okutonnya, abakulu ne bayingira mu nnyumba omwana n'asiga abweru yekka.

Enkuba bwe yakedde okutandika okumunoonya ,ne bazuula omulambo mu kinnya, ekyasimibwa okukunguunya mukoka mu nnimiro y'emmwanyi.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Samson Lubega, agambye nti  abazadde bagiddwako sitatimenti mu kubuuliriza okuzuula oba nga ddala wabaddewo obulagajjavu.

Tags: