AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo acamudde abavubuka b’ekibiina kya NRM okuva mu yunivasite mukaaga mu kibuga Mbarara bweyabadde agenze okukwasa abawanguzi ekikopo mu mizannyo egyayindidde mu kisaawe kya Kakyeka Stadium

Abawanguzi nga bajanjawaza
Ekikopo kino kyatuumiddwa “Mbarara City NRM Cup Sports Gala” kyokka nga kyabaddemu ekintambuli ky’e mizannyo emirala okuli omupiira gw’a bakyala ogw’okubaka, omupiira gw’abasajja ogw’e bigere n’okuvuga obugaali.
Mu mupiira gwa balenzi ogw’e bigere abavubuka abava mu kitundu kya Mbarara City South Division be batusse ku fayino n’aba Mbarara North Division. Okukakkana nga Mbarara North Division yeeyetisse ekikopo bwe yawangudde South ku ggoolo 4:3 mu nkola ey’okusimulagaana penati.

Essanyu lw'obuwanguzi
Seth Murari, omukwanaganya w’e by’e mizannyo mu offiisi ya ssentebne wa NRM kyokka nga mwana nzaalwa y’e Mbarara yategezezza nti emizannyo gino gyategekeddwa okwongera okutabaganya abavubuka b’e NRM n’ebibiina ebirala n’ekigendererwa ky’okutumbula eby’e mizannyo.

Team ezabbinkanye
Namyalo yagumiza abavubuka b’e Mbarara nti afunye omukisa ogulaba embeera y’e kisaawe kya Kakyeka Stadium e Mbarara gye kirimu nga teyeeyagaza kubanga bulijjo akiwulira buwulizi linnya naye kirabika bubi nnyo era agenda kukwatagaana ne ssentebe wa NRM e Mbarara Wilson Tumwine bagende basisinkane Pulezidenti Museveni bamusabe n’ekisaawe kino kizimbi bwe nga bweyakoze e ky’e Hoima.

Abawanguzi nga basabyufu
“Ebye mizannyo kati gwafukira ddala mulimu gwe nnyini ogumu kugusinga okuyingiza ensimbi mu nsi yonna, Museveni bwatazimba kisaawe kino kibeera tekiyamba kutumbula bitone bya bavubuka abato be ndabye baabyoleesa wano wakati wa Mbarara North ne Mbarara South” Namyalo bweyategezezza