Amawulire

Gen. Mugisha Muntu asabye banne abali mu by'obufuzi okuzimba omukululo

RT.Major.Gen.Mugisha Muntu akwatidde ekibiina kya ANT Bendera ku bwa Pulezidenti asabidde owa FDC akalulu mu bitundu by'e Lango n'asoomoza banne bwebali mu nsiike y'eby'obufuzi okuzimba omukululo.

Gen.Mugisha Muntu ng'abuuza ku Odonga Otto
By: James Magala, Journalists @New Vision

RT.Major.Gen.Mugisha Muntu akwatidde ekibiina kya ANT Bendera ku bwa Pulezidenti asabidde owa FDC akalulu mu bitundu by'e Lango n'asoomoza banne bwebali mu nsiike y'eby'obufuzi okuzimba omukululo.

Muntu bw'abadde asaggula akalulu mu Disitulikiti y'e Lira,asiimye eyali omubaka wa Erute North kati omugenzi,Hon.Charles Angiro Gutomoi Abac Acon gweyaayogeddeko nga eyali omulwanirizi w'Eddembe kayingo era nga wano yasabidde Mutabani we Isaac Ojok eyesimbyewo ku ky'omubaka wa Erute North.

Mugisha Muntu ng'asaba akalulu

Mugisha Muntu ng'asaba akalulu

Eno Muntu ategeezezza abaayo nti wadde nga ekibiina kye ekya ANT tebalina nkolagana yonna n'ekibiina kya FDC olw'endowooza ezabaawula nti kyokka wakukola kyonna okuwagira mutabani wa Gutomoi ng'agamba nti webaaberera mu FDC nga tenatabanguka omugenzi yakola nnyo okulwanyisa obutali bwenkanya emyaka 15 gyeyamala mu Palamenti y'e Ggwanga.

Wabula Muntu asabye Mutabani wa Gutomoi obutetantala kumunoonyeza kalulu k'obwa Pulezidenti n'amusaba asigale ku Nandala Mafaabi nga amateeka g'ekibiina kye ekya FDC mwali bwegagamba okwewala ebizibu.

Kyokka Muntu yasomoozezza bannabyabufuzi okwewala obunnanfuusi nga batwala eky'okulabirako kya Gutomoi olwo basobole okuleka omukululo omulungi wadde nga bavudde mu Nsi.

Mugisha Muntu ng'asaba akalulu

Mugisha Muntu ng'asaba akalulu

Abantu mu Disitulikiti y'e Lira,balajanidde Muntu ku bizibu omuli;Amasannyalaze agavavako,Ebbula ly'Amazzi amayonjo,Enguudo n'ebirala n'abasuubiza nti bwebamulonda ajja kubitereeza.

Yo mu Disitulikiti y'e Kwania Muntu asabye abaayo okumulona n'abalabula okwewala Bannabyabufuzi ababakozesa okyuyisaawo ebyabwe ne batakola ku nsonga zaabwe ezibanyiga

Tags: