Amawulire

Bannalotale batongozza kampeyini y'okuzimba Bukulula Health Centre III e Kalungu

BANNALOTALE ba Rotary club of Mengo bajjanjabye abatuuze abasobye mu 400 mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu mu kaweefube gwe baliko okuyambako mu kuteereza eby'obulamu n'embeera z'abantu. 

Bannalotale batongozza kampeyini y'okuzimba Bukulula Health Centre III e Kalungu
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision
BANNALOTALE ba Rotary club of Mengo bajjanjabye abatuuze abasobye mu 400 mu ggombolola y'e Bukulula e Kalungu mu kaweefube gwe baliko okuyambako mu kuteereza eby'obulamu n'embeera z'abantu. 
 
Olusiisira lw'ebyobulamu balukubye ku ssomero lya Crested High e Mukoko nga bakulembeddwaamu Pulezidenti waabwe Ronald Migadde Musoke n'ow'abakyala ba Inner Wheel Club of Mengo Beatrice Mirembe ne basiima abatuuze abajjumbidde entekateeka eno. 
 
Oluvannyuma beegattiddwako abamu ku bakulembeze okubadde omuwabuzi wa Pulezidenti Vincent Bamulangaki Ssempijja n'owa LCI ku kitundu Dawson Kato ne balambula omulimo gw'eddwaliro eriri ku mutendera gwa Health Centre III lye bali mu kuzimba. 
 
Pulezidenti Migadde yategeezezza nti ebimu ku bigendererwa by'olusisira lw'ebyobulamu luno kwe kwongera okumanyisa abantu eddwaliro lino erituuse ku mutendera gw'okusereka n'asaba abasobola okubakwatirako n'obuyambi bw'emiti,amabaati n'ebirala. 
 
Abatuuze basiimye obujjanjabi obwabaweereddwa ne balaga essuubi nti bakukendeeza ku ndwadde okuli omusujja gw'ensiri, alusa, okulumwa amaaso n'amannyo, entunnunsi n'endala ze bagambye nti ze zisinga okubamalako emirembe.
Tags:
Bukulula Health Centre III
Kalungu