Amawulire

Abasuubuzi mu katale k'e Mbarara balaajanidde Pulezidenti Museveni ku misolo

ABASUUBUZI b’omu katale k’e Mbarara Central Markert balaajanidde Pulezidenti Museveni okubataasa ku misolo egisusse abakulira ekibuga ky’e Mbarara gye baabasasuza okukoleera mu katale.

Hadijah Namyalo e Mbarara
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision
ABASUUBUZI b’omu katale k’e Mbarara Central Markert balaajanidde Pulezidenti Museveni okubataasa ku misolo egisusse abakulira ekibuga ky’e Mbarara gye baabasasuza okukoleera mu katale.
 
Obubaka baabutisse akulira offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajat Hadijah Namyalo  abagambire Pulezidenti Museveni yabakolera omulimu omulungi n’abazimbira akatale ek’omulembe ke bamusaba ng’ate ne bakasitoma baabadde babulina kyokka emisolo gisusse.
Hadijah Namyalo ng'atambula ku streets ze Mbarara

Hadijah Namyalo ng'atambula ku streets ze Mbarara

 
 
Abas Nsegimana ne James Muhoozi, abatunzi b’e byenyanja mu katale kano aka Mbarara Central Market bagambye nti omusuubuzi asasula wakati wa 100,000/= ne 200,000/= amassanyalaze omwezi okusinziira ku buzinensi gy’okola kubanga tebalina miita.
 
“ Kuno gattako emitwalo 21,000/= buli yuniti ya mazzi, 70,000/= egya firiigi          mwe tutereka ebyenyanja buli mwezi” ne kalonda omulala kyokka nga bannayuganda abalala mu bitundu bye ggwanga eryenjawulo balowooza nti ffe tetusasula na musolo gwonna.
 
Bayongeddeko nti tusaba Namyalo  ayogereko ne Museveni naffe batuwe ku ssente za katale looni kubanga tuwulira nti eyambye nnyo okukulaakulanya abasuubuzi mu butale obw’enjawulo ng’ate Pulezidenti kaweefube ono yamutongoza mu May/2025.
Akatale k'e Mbarara

Akatale k'e Mbarara

 
Naome Tusiime yategezezza nti ne ssente za PDM, emyooga ne Grow ez’a bakyala tuziwulira buwulizi n’abatono abakazifunamu bafunaako bitundu “Ffe twagala ssente zino ziveemu obukwakulizo obuzitekebwako kubanga kifiiriza ebyenfuna by’e ggwanga.
 
Mu ngeri y’emu n’abasuubuzi abakoleera mu katale kano abasiraamu  balajanidde Namyalo abagambire ku ssentebe w’a katale kano Emmanuel Muhumuza kubanga ekifo kye baababaterawo okusaliramu nga omuzikiti kati yakigyawo batundiramu bintu birala.
 
 Bino Muhumuza yabyeganye n’agamba Namyalo nti ebimwogerwako bikyamu era bagenderera kumwonoonera linnya kubanga akatale kano kazimbibwa kusuubuliramu si kifo kyakusinzizaamu.
Hadijah Namyalo ng'ali e Mbarara

Hadijah Namyalo ng'ali e Mbarara

Namyalo  yagumiza abasuubuzi nti ekya ssente za massanyalaze n’amazzi eby’omwezi gwa November ne December/2025 tebafaayo ssentebe wa NRM mu disitulikiti e Mbarara agenda kulaba  baabisasula.
Yabasubiza nti ensonga zabwe agenda zitusa ewa Museveni okulaba nga nabo mu kisanja ekijja balina okufunamu era nasuubiza nti agenda kufuba okulaba nga balwanyisa enguzzi mu bitongole bya gavumenti.
Tags: