Amawulire

Minisitule y'ebyobulamu eyagala olunaku lw'ababbira lukuzibwe mu bizinga.

Minitule y'ebyobulamu mu ggwanga Uganda eyagala olunaku lw'abantu ababbira mu nnyanja ne bafa lukuzibwenga mu bizinga awali abantu abasinga okukosebwa. 

Dr Oralo Charles nga asoma obubaka bwa Minisita w'ebyobulamu bwamutiise. EKIF. Samuel Nkuba
By: Samuel Nkuba, Journalist @New Vision

 

Minitule y'ebyobulamu mu ggwanga Uganda eyagala olunaku lw'abantu ababbira mu nnyanja ne bafa lukuzibwenga mu bizinga awali abantu abasinga okukosebwa. 

Bino byogeddwa kamisona we kitongole kya Clinical Services Dr. Oralo Charles bwabadde akiikiridde minisita ku mukolo gwokujjukira olunaku lw'ababbira olukuziddwa olunaku olwaleero ku Rainbow International School Uganda e Kansanga.  

Mu kiwandiiko ekisomeddwa minisita yenyamidde olwabavubi abatafuddeyo kukozesa life jackets kyokka nga bazirina.

Tn 2

Tn 2

"Abavubi mulekere awo okugenda kubvuba naddala nga mutamidde kubanga kino kyekiviraako abasinga okuggwa mu nnyanja n'ebafa," ekiwandiiko bwekiraze. Okulwanyisa abantu okufiira mu nnyanja sibuvunanyizibwa bwa Gavumenti kyokka wabula bwabuli munnayuganda awangalira okumpi n'ennyanja oba omugga. Minisita bwayongeddeko mu mu kiwandiiko.

Moses Kalanzi akulira Swim Safe Uganda abakulembeddemu ebijaguzo bino ategezezza nti bata omukago n'ekitongole kyebyobulamu okubakwasaganyizaako omulimu guno ogwokusomesa abantu abaliraanye ennyanja kungeri gyebayinza okutaasamu abantu. 

Abatendekebwa e Mayuge ne Buliisa mu kuwa obujjanjabi obusokerwako bawereddwa amabaluwa. EKIF. Samuel Nkuba

Abatendekebwa e Mayuge ne Buliisa mu kuwa obujjanjabi obusokerwako bawereddwa amabaluwa. EKIF. Samuel Nkuba

"Twakasomesa abantu ataano okuva mu disitulikiti ye Kalangala ne Buvuma nga tuli wamu ne Emergency Medical Services ku kutangira obubenje bw'okumazzi," Kalanzi bwayongeddeko. 

Omulamwa gw'olunaku luno gubadde nti "Buli omu abeeko kyakola waleme kubaawo abbira nafa," era nga gwetabiddwako abantu abenjawulo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: