Minisitule y'Ebyobulamu esabye Bannayuganda okugikwasizaako mu kutumbula ebyobulamu

MINISITULE y'Eby'obulamu esabye Bannayuganda bonna mu ggwanga okusitukiramu bakwasizeeko Gavumenti mu kawefube waayo gw'eriko okutereeza embeera y'eby'obulamu mu ggwanga.

Dr. Dianah Atwine
By James Magala
Journalists @New Vision
Omulanga guno eri Bannayuganda gukoleddwa Omuwandiisi ow'enkakkalira mu Minisitule y'Eby'obulamu Dr. Dainah Atwine bw'abadde akwasibwa ekyuma eky'okulembe ekyeyambisibwa mu kusannyalaza abakyala abalongoosebwa nga bagenda okuzaala ekiweereddwayo aba Kkampuni ya Uganda Breweries.Dr. Dianah Atwiine agambye nti ekyuma ekibaweereddwa bagenda kukiweereza mu ddwaliro ly'e Mayuge n'ategeeza nti eddwaliri lino limaze ebbanga ddene nga teririna kyuma kino n'asiima aba Uganda Breweries olw'okubaddukirira n'asaba n'asaba n'abantu abalala okubakwasizaako.
 

 
Awadde eky'okulabirako nti amalwaliro mangi agatalina byuma nga kino ate nga kyetaagisa nnyo n'ategeeza nti singa abantu bonna bakolera wamu okusonda ssente okugula ebyuma bino embeera y'obujjanjabi mu malwaliro yakwongera okutereera.Bo aba Uganda Breweries nga bakulembeddwamu Juliana Kaggwa beeyamye okwongera okukwasizaako Gavumenti mu kaweefube w'okutumbula eby'obulamu mu ggwanga.