Minisita omubeezi ow'ebyettaka Dr. Sam Mayanja azzeeyo e Kayunga okulondoola ebiragiro byeyawa omugagga Penninah Awori Mulindwa gyeyasenda ebibanja by'abatuuze.
Ku mulundi guno minisita Mayanja alese atabaganyizza omugagga Awori Mulindwa n'abatuuze abaamuloopa olw'okubagobaganya ku bibanja kwebamaze emyaka n'ebisiibo n'asendera emmere n'emwanyi.
Asoose kwevumba akafubo mu ofiisi ya RDC e Kayunga Mariam Nalubega akeetabiddwamu omuyambi wa pulezidenti mu mirimu egy'enjawulo Phionah Balungi, omugagga Penninah Awori n'abakulembeze abalala n'oluvanyuma ne bagenda e Butalabuna mu ggombolola y'e Kayonza ne basisinkana abatuuze abagugulana n'omugagga Awori okubanjulira ebituukiddwako.
Dr. Mayanja agambye nti kati embiranyi wakati wa Awori n'abatuuze eweddewo okuva omugagga ono lw'akkirizza okuliyirira ab'ebibanja abatuufu abali ku ttaka lye era minisita amulagidde ajje abakuumi ab'emmundu ab'obwannanyini ku ttaka lino ebuvunanyizibwa bw'okukuuma bizzibwe ewa RDC nga pulezidenti bweyalagira nti abakuumi b'obwannanyini bajjibwe mu nsonga z'ettaka.
Mayanja asazizzaamu ekiragiro ky'omukwata Awori era n'alagira Awori atuule n'abantu abasasule bw'aba ayagala bave mu bibanja babimulekere.
Ssentebe w'eggombolola y'e Kayonza John Muramuzi, ssentebe w'ekyalo Nabusanja Sam Kalinnya n'abatuuze abalala baloopedde minisita nti omumyuka wa RDC e Kayunga Solomin Trevor Baleke yetoloolerwako nnyo emivuyo gy'ettaka era mu bitundu ebimu abagagga bamugabanyizaako ku ttaka ne beegatta ne bafutyanka bannanyini bibanja.
Omugagga Awori yagula ettaka yiika 100 okuva ku Rev. Tashobya era nga yatandika okuzimbako eddwaliro ly'abalwadde ba nnalubiri (sickle cells) n'essomero wabula nga ebbanga lyonna azze agugulana n'abatuuze abamulumiriza okuwamba ebibanja byabwe ku kifuba.
Omuyambi wa pulezidenti ku mirimu egy'ennawulo Phionah Balungi ayise abatuuze bonna abakyalinamu okwemulugunya ku Awori bagende mu ofiisi ye bongere okumulungula obumulumulu obukyasigalidde wabula n'alabula nti abanaamulimba bajja kuvunaanibwa.
Penninah Awori yebazizza minisita Mayanja okumuwa omukisa okwenyonyolako era n'asuubiza okukwatagana obulungi n'abatuuze nga bwekyali mu ntandikwa nga yakagula ettaka