Eddwaliro lya Gavumenti e Gulu libangibwa ssente z'amazzi akawumbi kalamba

ABABAKA ba palamenti ku kakiiko akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo beewunyiza okuba nga eddwaliro lya Gulu Regional Referral Hospital limaze emyaka 10 nga terisasula bisaale bya mazzi nga kati bano babangibwa akawumbi kalamba kyokka nga tewali bbaluwa kuva mu bamazzi zibanja bano nsimbi zino.

Abakulira eddwaliro lya Gavumenti e Gulu nga bali mu kakiiko
By Edith Namayanja
Journalists @New Vision

ABABAKA ba palamenti ku kakiiko akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omusolo beewunyiza okuba nga eddwaliro lya Gulu Regional Referral Hospital limaze emyaka 10 nga terisasula bisaale bya mazzi nga kati bano babangibwa akawumbi kalamba kyokka nga tewali bbaluwa kuva mu bamazzi zibanja bano nsimbi zino.

Munsisinkano akakiiko gyekabaddemu n’abakulira eddwaliro nga bakulembeddwamu alikulira Peter Mukobi okwekenenya alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2023.24, kizuliddwa nga bano bamaze emyaka 10 nga tebasasula banja lya mazzi kyokka nga ne mumbalirira tebawereddwa yadde ennusu okusasula ku bbanja eririnya buli kadde.

Amyuka ssentebe w’akakiiko kano Gorreth Namugga agambye nti ku trillion 1 n’obuwumbi 400 obwatereddwa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi guno 2025/26, Gulu teyawereddwa yadde ssente ku zino nga n’ekyewuunyisiza ababaka kwekuba nga ebbanja lino likula buli kadde nga tebaswalwako mazzi.

Mukwewozaako, Mukobi ategeezezza nti bazze bawandiikira minisitule y’eby’ensimbi ku nsonga eno wabula nga tebafuna kwanukula wabula nga kati batandiika enteekateeka y’okweterekera amazzi g’enkuba okubayambako ebbanja obutalinya nnyo.

Ababaka era bawuunikiridde bwebakitegedde nti eddwaliro teririna kifo kimala wajanjabirwa baana bazalibwa nga tebanetuuka nga mu wiiki bafiirwa wakati w’abaana 2 ku 4 olw’okuba nti besingaana nga balina okugata abamu mu butanda bwabwe ekintu ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga.

   ‘’twetaaga ekifo ekimala obulungi kubanga kati myaka etaano tetuweebwa nsimbi zakwekulakulanya nga ekifo ekitono ekiriwo abaana tubagatika ate nga buli omu abeera n’obuzibu bubwe ekiviirako abamu okutufaako”. Mukobi bwategeezezza