Bannakibiina kya NRM bakung'aanidde ku kisaawe e Wakiso okulindirira Pulezidenti Museveni
Abakungu ab'enjawulo bamaze okutuuka ku kisaawe kya disitulikiti e Wakiso nga balindirira okwaniriza Pulezidenti Museveni agenda okusisinkana abakulembeze mu Wakiso.
Abawagizi ba NRM nga balindiridde Museveni
By Peter Ssaava
Journalists @New Vision
Abakungu ab'enjawulo bamaze okutuuka ku kisaawe kya disitulikiti e Wakiso nga balindirira okwaniriza Pulezidenti Museveni agenda okusisinkana abakulembeze mu Wakiso.
Aba NRM nga balindiridde Museveni
Kubakungu abakatuuka kuliko Minisita w'ebyettaka Judith Nabakooba, Minisita omubeezi ow'ebyamawulire Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Minisita w'ebyobulambuzi Ephraim Kamuntu, Minisita wa Gavumenti ez'ebitundu Raphael Magezi nabalala. Omulamwa omukulu mu nsisinkano eno kwekulaba ebizibu eniruma bannawakiso ssaako n'okulaba bwe biyinza okugonjoka kwossa nengeri NRM gyeyinza okweddiza ebifo eby'enjawulo mu disitulikiti ye Wakiso. Museveni era wakufuna obujulizi okuva mubantu ab'enjawulo abaganyuddwa mu ssente za PDM eziyambye abangi okwejja mubwavu ng'emu kumpagi ya NRM kwetambulira