Kitalo! Abayizi bafudde nga bava okulambula bbaasi bwe yeefudde emirundi 4 e Zigoti!

Bbaasi y'essomero ebadde eva okulambula egudde ku kabenje n'etta abayizi 2 n'abalala ne bafuna ebisago eby'amaanyi

Kitalo! Abayizi bafudde nga bava okulambula bbaasi bwe yeefudde emirundi 4 e Zigoti!
By Benjamin Ssemwanga ne Luke Kagiri
Journalists @New Vision
#Kabenje #Bayizi #Pulayimale

ABAYIZI abasoba mu 100 aba P5, P6 ne P7 ababadde bava e Kasese ne FortPortal ku ‘trip’ (soma tuliipu) eyategekeddwa essomero lyabwe bagudde ku kabenje babiri ne bafiirawo, abalala kumpi 20 ne batuusibwako ebisago eby’amaanyi.

Embeera Nga Bwe Yabadde Ku Ssomero.

Embeera Nga Bwe Yabadde Ku Ssomero.

Akabenje kano kaagudde ku kyalo Kagavu, okumpi ne Zigoti nga baakava e Mityana mu tawuni. Abayizi baabadde batambulira mu bbaasi nnamba UAP 829U, eri mu mannya ga HMK Transporters Ltd.

Abayizi abaagudde ku kabenje ba ssomero lya Day Star Junior School erisangibwa mu Kirombe Zone mu munisipaali y’e Makindye, bwe baabadde bava okulambula e Kasese ne Fort Portal mu Bugwanjubwa bwa Uganda.

Abaana abafudde ye: Rona Kakembo 11 ne Pamela Nabasumba 11 nga bombi babadde basoma P5 nga kigambibwa nti, wakati mu bbaasi okwevulungula emirundi ena, baawandagadde okuva mu bbaasi ne bafiira mu bulumi.

Abazadde Nga Bapakira Emigugu Gy'abaana Abaagudde Ku Kabenje

Abazadde Nga Bapakira Emigugu Gy'abaana Abaagudde Ku Kabenje

Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Michael Kananura, agamba nti, akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 11:30 ez’okumakya eggulo ku Ssande, nga kigambibwa nti, ddereeva wa bbaasi eno obukoowu bw’amuyinze ne yeebaka, ekyavuddeko bbaasi okuva ku luguudo, ne yeevulungula emirundi egiwera okutuusa bwe yekkase wansi mu luwonko.

Ekyabadde ku ssomero
Bukedde bwe yatuuse ku ssomero lino eggulo, gyabadde miranga na kwaziirana, nga buli muzadde awulira ku kabenje kano adduka za mbwa ku ssomero ategeere embeera omwana we gye yabaddemu.

Wabula ku ssomero tewaabaddewo mukulu yenna kunnyonnyola bazadde.

Mwannyina w’omuyizi Nabasumba eyafudde, nga ye Colline Kitenda gwe twasanze ku ssomero nga bimusobedde, yagambye nti, mwannyina abadde mu kibiina kyakutaano, era okulambula kuno essomero ly’abategeeza nti, kwali kwa bayizi abali mu bibiina okuva ku P5 okutuuka P7.

Nabasumba Eyafudde.

Nabasumba Eyafudde.

Yannyonnyodde nti, baasasula 250,000/- buli muyizi ez’olugendo luno, era abayizi ne basitula ku Lwokutaano, nga baabadde bakomawo eggulo ku Ssande kwe kugwa ku kabenje.

Akola ng’omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Mishael Teriyetu yagambye nti, abayizi n’abantu abalala abaakoseddwa mu kabenje kano baddusiddwa mu malwaliro ag’enjawulo e Zigoti, Mityana ne Kampala, eri abo abaabadde mu mbeera embi.

Ddereeva wa bbaasi eno yeemuludde n’adduka oluvannyuma lw’okukola akabenje era poliisi yagambye nti, emuyigga.

Kananura yalabudde ab’amasomero okufaayo ennyo ku kukuuma abayizi kubanga babeera mu mikono gyabwe ate bo tebeetegeerera, nga buvunaanyizibwa bwa ssomero okulaba ng’abayizi batambulira mu mbeera ennungi ku hhendo ez’ekika kino.

 Ab’amasomero yabawadde amagezi okwewala okutambuza abayizi ekiro nga bakooye, n’agamba nti, baba balina kusulayo, ne batambula enkeera nga batoowolokose. Era balina okufuba okulaba nga mmotoka mwe batambuliza abaana b’abantu ziri mu mbeera nnungi. Era bafube okulaba nga baddereeva balina obukugu ne layisinsi ezibakkiriza okuvuga ebidduka, ate nga tebanywa ku mwenge nga bavuga