Poliisi y'ebidduka ekyanoonyereza ku kabenje ka bbaasi omwafiiridde abaana b'essomero

POLIISI y'ebidduka ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku kabenje ka bbaasi omwafiiridde abaana b'essomero n'okulumya abalala eggulo.

Poliisi y'ebidduka ekyanoonyereza ku kabenje ka bbaasi omwafiiridde abaana b'essomero
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Bbaasi #Kunoonyereza #Kufa #Baana

POLIISI y'ebidduka ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku kabenje ka bbaasi omwafiiridde abaana b'essomero n'okulumya abalala eggulo.

Akabenje kaagudde Kagavu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana bbaasi egambibwa okuba eya kkampuni ya HMK Transporters Ltd nnamba, UAP 829 U bwe yabadde etambuza abaana b'essomero lya Day Star P/S mu Kirombe zzooni e Makindye.

Kigambibwa nti baabadde bava kulambula e Kasese nti mu kudda, kigambibwa nti ddereeva n'asumagira ekyavuddeko bbaasi okuwaba n'egwa ne yeefuula n'etta abaana 2 n'okulumya abalala okwabadde omukulu w'essomero ne ba tour guides bana ne bafuna ebisago.

Abaana abaafudde kuliko Rona Kakembo 11 ne Pamela Nabasumba 11 nga bombi baabadde basoma P5.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti bbaasi yabadde akomawo okuva e Kasese nti dereeva , bakyamunoonya