Omwana eyabuze e Luwero asattizza Poliisi ne Famire

POLIISI y'e Luweero eri mu kuyigga mwana ow'emyaka omukaaga eyabuze ku bakaddebe n'asattiza ekyalo.

Omwana eyabuze e Luwero asattizza Poliisi ne Famire
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
POLIISI y'e Luweero eri mu kuyigga mwana ow'emyaka omukaaga eyabuze ku bakaddebe n'asattiza ekyalo.
 
Babirye Nankya nga muyizi mu Namaliga Church of Uganda Primary School, yabuze ku bakaddebe abasangibwa mu Namaliga South, Bombo Town Council mu disitulikiti ya Luweero.
 
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti omwana okubula yabadde agoberedde mugandawe Nakato eyabadde atumiddwa nnyina okugenda okutunga engattoye mu kabuga e Bombo nti kyokka teyazzeemu kukubikako kimunye.
 
Poliisi eguddewo omusango gw'omwana okubula nga bwemuyigga omuli okugya sitatimenti ku bantu ab'enjawulo n'esaba alina kyamanyi oba okumulabako agituukirire