Ekkolero likutte omuliro e Kapeeka

EBINTU ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi bitokomokedde mu muliro ogwakutte ekkolero e Namunkekeera mu ggombolola y'e Kapeeka mu disitulikiti ya Nakaseke.

Ekkolero likutte omuliro e Kapeeka
By Kanyike Samuel
Journalists @New Vision
EBINTU ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi bitokomokedde mu muliro ogwakutte ekkolero e Namunkekeera mu ggombolola y'e Kapeeka mu disitulikiti ya Nakaseke.
 
Omuliro oguteeberezebwa okuva ku masannyalaze gwasaanyizzaawo ebitereke ebikubyeko  eby'amasanyalaze ebisukka 120 ebyabadde bipakiddwa okutwalibwa okutundibwa, ebyuma, kompyuta, fayilo,sitampu n'ebirala.
 
 
Kyategeezeddwa nti tewaabaddewo mmotoka ezikiriza muliro ku kkolero lino kyokka aba kampuni ekola oluguudo oluva e Matugga okudda e Kapeeka baaleese mmotoka y'amazzi eyayambyeko okuzikiriza omuliro ne gutalandukira ku makolero malala n'abantu obutagufiiramu
 
Twineamazima ategeezezza nti banoonyereza ekyaviiriddeko omuliro okukwata ekkolero.
 
Namunkekeera erimu amakokero agasukka 20 agakola ebintu eby'enjawulo omuli ensawo, engoye, tayilo, obuwunga, eby'amasanyalaze n'ebirala ng'ekozesa abakozi abakunukkiriza 10,000