Ssentebe agambibwa okwekobaana n'ababbi ne babba kkompyuta z'essomero akwatiddwa

Ssentebe wa LC1 agambibwa okwekobaana n'ababbi ne babba kkompyuta z'essomero, akwatiddwa poliisi.

Ssentebe agambibwa okwekobaana n'ababbi ne babba kkompyuta z'essomero akwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Amawulire #Ssomero #Kkompyuta #Kwekobaana #Kubba #Kukwatibwa

Ssentebe wa LC1 agambibwa okwekobaana n'ababbi ne babba kkompyuta z'essomero, akwatiddwa poliisi.

Rogers Haluma, ssentebe wa LC1 ku kyalo Bumwango mu muluka gw'e Wambigo mu ggombolola y'e Namboko mu disitulikiti y'e Naminsindwa , y'akwatiddwa ku bigambibwa nti aliko ky'amanyi ku kubbibwa kwa kkompyuta munaana okuva ku ssomero lya Namboko Seed School.

Kigambibwa nti ssentebe era abadde akola ogw'obukuumi ku ssomero lino, nti yabadde avuddewo okudda eka, nti we yakomeddewo ekiro, ng'ababbi bamenye ne batwala kkompyuta n'ebintu ebirala.

Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika, ategeezezza nti baatutte embwa ezikonga olusu okukulemberamu poliisi, ne zisibira mu maka ga ssentebe ne mu kifo ababbi , we baasudde ebimu ku byuma.

Agasseeko nti baakutte ssentebe ono n'omulala Martine Wanyakala bayambeko mu kubuuliriza ku bunyazi buno.