Ettaka ery’ogerwako liri ku bugazi bwa yiika 50 era nga lirudde nga liriko enkaayana wakati wa Buganda Landboard ne musiga nsimbi Ismael Mohammed.
Minisita Mayanja asoose n’alagira abatuuze bonna ababadde balima emmere ku ttaka lino okukolagana n’omuyindi era baweebwe ebbanga okugigyamu, ekintu ekigye abatuuze mu mbeera ne baagala okwegugunga, nga bwe bewera okufafaagana n’omuyindi nga kwogasse n’abamagye be yassaayo ababalemesa okulima.
Minisita Mayanja ng'ayogera
Kino kireseewo embeera ey’akanyoolagano olwo minisita, RDC Fatumah Ndisaba n’abakulembeze abalala ne bawalirizibwa okulirambula olwo minisita ne yeetema engalike n’amenyawo okusalawo kwe era n’alagira abatuuze okusigala nga balimira mu bibanja byabwe okutuusa ng’akoze okunoonyereza asalewo ekyenkomeredde ku nsonga eno.
Wakati mu kulambuzibwa ettaka lino, minisita n’abatuuze basigaanye abavubuka ababadde bagezaako okusimba obuyinja ku ttaka lino mu ngeri ey’obubba abadduse ne beekweeka, nga kwogasse n’abamagye abaaleetebwa omuyindi okukuuma ate okutandika okusima emmere y’abatuuze ekireetedde minisita okutankana obwa nanyini obutuufu obw’omuyindi ku ttaka lino ne yekyuusa era n’alagira basigale nga balima.
Puliida wa musiga nsimbi Richard Kiboijana agamba nti omuyindi yasooka n’agula yiika 17 okuva eri ekitongole kya KIMSAM nakyo ekyaguzibwa eyali omubaka ebiseera ebyo Isaac Muwanga, oluvanyuma n’addamu okugula yiika endala 33 ekyapa ky eky’okubiri ne kizingiramu poloti z’abatuuze n’essomero lya Kazinga Umea Primary School.
Omutuuze ng'awambye akayinja akapima akaawula ettaka
Abatuuze bategeezezza nga bwe babadde bawa obusuulu eri Buganda Land board okuva mu mwaka gwa 1960 era nga nabo beewuunya musiga nsimbi okuva gye yava n’atandika okubagobaganya awatali kutaliza yadde essomero elimaze emyaka egisoba mu 100 ku ttaka lino.
Minisita anyonyodde nga ssemateeka bw’awa ab’ebibanja eddembe era nti tebateekeddwa kutataaganyizibwa bannanyini ttaka bw’atyo n’alagira abalina ebyapa ku ttaka lino ebyakolebwa mu bukyamu okusazibwaamu ekintu ekyasanyudde abatuuze.
Rdc Fatumah Ndisaba yasabye abatuuze okubeera abakakkamu era n’ategeeza nga bw’agenda okulaba ng’ebiragiro bya minsita bissibwa mu nkola.
Kyokka tewabadde mukiise yenna okuva eri Buganda Land Board okubaako by’anyonyola ku bwananyini bwaabwe ku ttaka lino.