MINISITA w’ebyettaka, Sam Mayanja atangaazizza ku nkola ya ‘Public Hearing’ eyeeyambisibwa kamisona w’ebyettaka ng’agenda okusalawo nnannyini ttaka omutuufu.
Mayanja yasinzidde ku pulogulaamu ya Mugobansonga ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ssaawa 1:00 ey’akawungeezi n’agamba nti azze awulira abantu nga beemulugunya lwaki ebyapa by’azze alagira okusazibwamu ate ensonga bazitwala mu nkola ya Public Hearing.
Minisita Mayanja
Minisita yagambye nti etteeka ly’ettaka erya Land Act liwa kamisona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa obuyinza okusazaamu obwannannyini bw’omuntu yenna.
Kamisona okusazaamu ayita mu nkola ya Public Hearing ng’eno tebeera kkooti, wabula lubeera lukiiko olwetabwamu enjuuyi zombi okuli olugamba basazeemu ekyapa awamu n’olukiwakanya.
Enkola y’okusooka okuwuliriza enjuuyi zombi yeeyambisibwa olw’okwagala okuleetawo obwenkanya. Olukiiko luno bwe luba lugenda okuyitibwa, ekirango kiteekebwa mu mawulire buli muntu n’amanya.
Wadde nga minisita w’ebyettaka alina obuyinza obulagira ekyapa okusazibwamu, kamisona w’ebyettaka gwe baawa obuyinza obukiteekesa mu nkola.
“Noolwekyo minisita bw’awanga ekiragiro ate n’owulira olukiiko lwa Public Hearing togaana kugendayo ng’olowooza nti kyaggwa dda. Kyokka obutagenda bw’oludda olumu tekigaana lukiiko kugenda mu maaso era n’omutuufu amanyibwa kuba wabeerawo obujulizi obutuufu,” Mayanja bwe yagambye.
Ekiyisa abantu abangi mu lukiiko kwe kubeerawo nga abajulizi babeere era nga ne bwe wabeerawo okukkaayana kwonna mu maaso balung’amya ekituufu.
Yawadde ekyokulabirako nti waliwo munnamagye omu eyali agamba nti ye nnannyini ttaka, kyokka olukiiko lwa Public Hearing bwe lwatuula, abatuuze ne bamulumiriza nti amannya g’abantu b’agamba abaamusemba ng’agula ettaka tebamanyiddwa mu kitundu era bwe kityo ekyapa ne kisazibwamu.
Mayanja mu mbeera y’emu yasabye abantu okukozesa omukisa gwa ssente ezisukka obuwumbi 1,000 ezaateereddwa mu nkola ya Parish Development Model mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja okwekulaakulanya. Yategeezezza nti ssente ezo nnyingi nnyo era zisobola oku-kyusa eggwanga singa ziba zikozeseddwa bulungi nga Pulezidenti Museveni bw’ayagala.
Ensi nga Taiwan, Malaysia ne Singapore zaaliko ku mutendera gw’ebyenkulaakulana gwe gumune Uganda, naye olw’okuba baawa abakulembeze obudde, baasobola okukyusa ensi zaabwe.
Kyokka emirembe egiri mu Uganda gigisobozesezza okutumbuka wadde nga tennatuuka gali amawanga, naye waakiri omuntu kati asobola bulungi okulondoola faamu ye eri e Mbale ng’akozesa tekinologiya ow’omulembe ali mu ggwanga.