MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka Dr. Sam Mayanja alangiridde olutalo ku bagagga abeefunyiridde okugobaganya abantu baliko obulemu ku ttaka lyabwe n’ategeeza nti yenna anaakwatibwa waakusibira Luzira.
Minisita Mayanja yagambye nti azze afuna okwemulugunya okuva mu bakulembeze b’abaliko obulemu ng’abagagga ensangi zino bw beefunyiridde okugobaganya abantu baabwe ku ttaka n’ategeeza nti tagenda kuganya ffujjo lino kugenda mu maaso.
Okulabula kuno yakukoledde ku kijjulo ky’abaliko obulemu ekiyitibwa Night to Shine ekyategeddwa ab’ekkanisa ya Caring Heart Ministry esangibwa e Kagula mu Wakiso.
Minisita
n’abawa amagezi okwekubiranga enduulu mu budde nga balumbiddwa ababagoba ku ttaka bakwatibwe bavunaanibwe. Paasita Paul Musisi ng’ali wamu ne Minisita Mayanja baabagabidde ebintu omwabadde; emifaliso, ssente enkalu ’ebirala. Paasita Musisi yasabye
abantu okukomya okusosola abaliko obulemu. Abakulembeze
b’Abaliko obulemu mu Wakiso mu bubaka bwabwe obubasomeddwa kkansala Deborah Mazzi baasiimye Paasita Musisi olw’okukumaakuma abantu ba bwe.