Amawulire

Minisita Chris Baryomunsi ayanjulidde abatikkiddwa ku ISBAT University ettu

MINISITA wa tekinologiya n’okuteekerateekera eggwanga Dr. Chris Balyomunsi, ayanjulidde bannayuganda ettu gavumenti lyereeta,  okuteerawo abayizi abamalirizza emisomo ssente okwekulaakulanya

DR. Chris Baryomunsi owookubiri ku ddyo n'abagenyi abalala nga bakaoleeza ettaawaza okutandika okutikkira abayizi
By: Vivien Nakitende, Journalists @New Vision

MINISITA wa tekinologiya n’okuteekerateekera eggwanga Dr. Chris Balyomunsi, ayanjulidde bannayuganda ettu gavumenti lyereeta,  okuteerawo abayizi abamalirizza emisomo ssente okwekulaakulanya.
Abyogeredde ku woteeri Africana,  ku matikkira g’e 18 aga yunivasite ya  ISBAT, abasobye mu 700 bwebafunye diguli esooka, ey’okubiri,  Diploma n’amabaluwa mu masomo ag’enjawulo okuli; Bizinensi, ICT, Engineering, Public Health n’ebirala.

Abayizi abaatikkiddwa diguli eyookubiri mu bizinensi MBA

Abayizi abaatikkiddwa diguli eyookubiri mu bizinensi MBA


Balyomunsi agambye nti mu kisanja  ekijja  NRM ng’ewangudde,   pulezidenti Museveni yayanjudde okuteekawo ensawo  ya  “Graduate fund” okuyambako abayizi abamalirizza emisomo  nga tebanafuna mirimu,  basobole okutandikawo egyabwe, naabasaba okuyiira pulezidenti Museveni obululu awangulire waggulu atuukirize  ebiyamba eggwanga.
Asabye ababaka ba paalamenti okwongera ku buyigirize bwabwe, nti kubanga  bangi abali mu paalamenti obuyigirize butono olw’etteeka eririwo nti , kasita omala siniya ey’omukaaga weesimbawo,  kyagambye nti kikonzibya  entambula y’emirimu kuba bingi ebibabulamu.
Asabye abatikkiddwa okubeera ba ambasada ba ISBAT nga bakola bulungi emirimu n’obuvunaanyizibwa, batumbule ekifaananyi n’erinnya lya  ISBAT ebabangudde. Neyeebaza ISBAT olw’okutumbula saayansi  ne tekinologiya, nti kubanga  kati atunuuliddwa nyo okutwala eggwanga mumaaso. 

Asiimye  ISBAT olw’okusitula ekifaananyi ky’eggwanga wano n’ebweru olw’omutindo gwereese mu tekinologiya. Neyeebaza pulezidenti  Museveni eyaleeta emirembe n’akkiriza abantu ssekinoomu omuli n’abagwira okutandikawo univasite,  kuba bweyajjira mu buyinza nga waliwo emu yokka eya Makerere,  ng’abantu bangi balemererwa okwegatta ku univasite, naye kati ziriwo 68.

Abamu ku batikkiddwa

Abamu ku batikkiddwa


Chansala wa Univasite eno Fred  Jachan  Omach Mandir ategeezezza nti, ISBAT eteeka nyo essira ku bya tekinologiya ne saayansi ekigifudde ey’enjawulo era namba emu wano mu Uganda ne East Africa, ate nebeera emu ku ezo 10 ezisinga mu Africa. Neyeebaza pulezidenti Museveni olw’okuleeta emirembe egisobozesa bingi okutumbuka.
Ssenkulu w’ekitongole kyeby’empuliziganya mu ggwanga ekya UCC, George William Nyombi Tembo,  agambye nti balina enkolagana ey’enjawulo UCC ne ISBAT okutumbula Tekinologiya kubanga takyewalika mu bulamu bwa bantu obwa bulijjo,  naawa ekyokulabirako nti kati omuntu asobola okusoma ekitabo mu ddakiika 25 naakimalako ng’akozesa tekinologiya,  sso nga luli kyatwalanga ebbanga, neyeebaza ISBAT okutumbula tekinologiya mu bannayuganda.
Ssentebe w’olukiiko olutandisi lwa ISBAT (board of directors) Varghese Mundamattam agambye nti,  baasalawo okukulembeza tekinologiya ne saayansi kubanga yeetoloolera kumpi mu buli kintu, nti wabula balina okusomoozebwa olw’ebikozesebwa mu tekinologiya okuba eby’obuseere ate nga tebiriiwo mu ggwanga, biva bweru ate nebibinikibwa omusolo mungi, naasaba gavumenti okubaako engeri gyebakwatizaako okukendeeza.
Abayizi abawadde entanda ng’abawa enjogera yeeyali  pulezidenti wa South Africa Nelson Mandela eyagamba nti; “omuwanguzi ye muntu aloota enyo naye nga tawanika”( A winner is a dreamer who never gives up)  nti kale nabo balemereko mu buli kyebakola bajja kuwangula.

Abamu ku batikkiddwa

Abamu ku batikkiddwa


Omukolo gwetabiddwaako abagenyi bangi okubadde;  akulira ekitongole kya NCHE Mary Okwakol, Elizabeth Onyango  kaminsona webyenjigiriza bya waggulu  e Kenya, pulof Paul O’Donnel ne pulof Juan Manuel Escober Garcia okuva mu univasite ya UCAM  e Spain n’abalala.
Omu ku batikkiddwa ye mubaka wa buyindi mu Uganda,  Upender Rawat Singh afunye diguli ey’okubiri mu Public Health era omu ku bayizi abasinze naafuna first class diguli.
Abayizi abanywedde mu bannaabwe akendo ne first class diguli baabadde 55 okuli; Amos Bangirana MSCIT 5.0,  Dephas Kahima Nabaasa MSCIT 4.93, Eric Keba Zablon MBA 4.96, Sylvia Patricia  Nalumenya MBA 4.96, Upender Rawat Singh MPI 4.91 n’abalala,  baweereddwa ebirabo okubasiima.
Tags: