Amawulire

Ebikwekweto ku nnyanja Kyoga biraajanyizza abakyala olw'okubabulizaawo abaami

Ebikwekweto ku nnyanja Kyoga biraajanyizza abakyala olw'okubabulizaawo abaami

Gen. Musgisha Muntu nga bamuloopera ebizibu
By: James Magala, Journalists @New Vision

EBIKWEKETO by'Amagye ku Nnyanja Kyoga bisatizza abakyala mu Disitulikiti y'e Apac nga bagamba nti bibamaliddewo abasajja baabwe ne balaajanira Rt.Major.Gen.Mugisha Muntu nti bw'afuuka Pulezidenti abataase.

Gen. Musgisha Muntu ng'asaba abantu akalulu

Gen. Musgisha Muntu ng'asaba abantu akalulu

Rt.Major.Gen.Mugisha Muntu,bw'abadde asaggula akalulu Ggombolola ya Akokolo mu Disitulikiti ya Apac,abakyala abawangalira ku Mwalo gw'e Ayei ogusangibwa ku Nnyanja Kyoga bamulombojedde ennaku gyebawangaaliramu olw'ebikweketo by'Amagye agali ku Nnyanja.

Abakyala,bategeeazezza Muntu,nti bangi beyombeddekedde oluvannyuma lw'abaami baabwe abakola obuvubi abayoolebwa ku Nnyanja mu bikwekweto by'Amagye ne bamusaba nti bwebamulonda kubwa Pulezidenti embeera eno agikoleko.

Muntu agambye nti ye bw'afuuka Pulezidenti si waakukkiriza magye ku Nnyanja n'agumya abavubi  nti bwebamulonda baakuddamu okwetaayiza ku Nnyanja.

Gen Mugisha Muntu ng'asaba akalulu

Gen Mugisha Muntu ng'asaba akalulu

Eno era abazadde balajanidde Muntu ku baana baabwe abayitirivu abeyiwa ku Kyeyo okuyiiya obulamu kyokka ne babakomezaawo mirambo ne bamusaba nti ensonga eno agikoleko n'abasuubiza okukikolako.

Abantu mu bitundu bya Apac eby'enjawulo,basabye Muntu okubatuusiza amasannyalaze mu Tawuni zaabwe nga bagamba nti ebitundu byabwe bingi birimu emiti gy'Amasannyalaze naye tebagalina nga bano Muntu abakakasizza nti bwebamuwa obuyinza ajja kubawa Amasannyalaze.

Gen.Muntu asabye Bannayuganda okumulonda abakolere ku bizibu byabwe

Tags: