POLIISI y'e Namutumba ekutte omusajja agambibwa okukuba munne n'amutta, ng'amuteebereza okubeera omubbi.
Bino bibadde ku kyalo e Busamo mu muluka gw'e Izirangu mu Ggombolola y'e Kirwanyi e Namutumba , omusajja ategeerekese nga Sam Lwekake 35 bwe bamukubye omuggo ku mutwe n'afa.
Akwatiddwa ye Sharifu , alumiriza omugenzi nti abadde amuyingirira ku ssaawa nga Munaana nga bukya, n'amukuba n'amutta, oluvannyuma omulambo n'agusuula ku kkubo.
Poliisi nga bakulembeddwamu ssentebe wa LC 1 Patrick Wayisana , basobodde okutuuka mu kifo awabadde ettemu omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kafayo , agambye nti wasoosewo nduulu n'oluvannyuma abatuuze ne ssentebe ne bagezaako okuduukirira nti kwe kusanga Ashirafu n'abategeeza nga bw'asse omubbi.
Ebyo nga bikyali awo, poliisi ekutte abagambibwa okuyingira mu ggwanga mu bukyamu babiri ku kyalo Namasere e Bugiri era nga bakuumirwa ku poliisi ng'okunoonyereza kukolebwa. Nti babadde batambulira ku boda boda.