Pulaani ya Kadaga ne Among ku kifo kya CEC

EMBIRANYE ya Sipiika wa Palamenti, Anita Among n’omumyuka asooka owa Katikkiro wa Uganda.

Kadaga ne Among
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EMBIRANYE ya Sipiika wa Palamenti, Anita Among n’omumyuka asooka owa Katikkiro wa Uganda.
Rebecca Kadaga enkya ku Lwokusatu lw’etuuka ku ntikko, abenene bombi lwe bagenda okwemala eggayang’ano mu ttabamiruka wa NRM.Ttabamiruka wa NRM atuulamu abakiise abasoba mu 25,000 ’agenda okusalawo kw’ani ku Kadaga ne Among agenda okufuuka Omumyuka owookubiri owa ssentebe wa NRM, ekifo ekitabudde abakyala bano bombi gattako n’okwabuluzaamu ekibiina.

Enkambi zombi zikoze Pulaani ey’okukuyega abalonzi nga bayita mu kubamatiza gattako okukwatako mu nsawo okulaba nti abakiise batuuka mu ttabamiruka e Kololo ku Lwokusatu nga babayiira obululu!

Kadaga ne Among ensonga zaabwe zaasooka mu lukiiko lwa NRM olw’oku ntikko CEC ne ziguba kwe kusindikibwa ku lukiiko olufuzi olwa NEC kyokka nayo ne zikwata wansi ne waggulu songa enkiiko zombi zaakubiriziddwa ssentebe w’ekibiina, Gen.  Museveni.

Enkiiko za NRM okuli olw’oku ntikko olwa CEC n’olufuzi olwa NEC be baasoose okulemwaokumatiza Kadaga ne Among omu  alekere munne ekifo, olwo omulala alondebwe Pulezidenti butereevu ng’atuula ku CEC nga ‘ex official’.
KADAGA NE AMONG BAZIIMUDDE ABA JOINT CHRISTIAN COUNCIL
Ensonda zaategeezezza nti Abakulembeze b’enzikiriza ya Kristo abeegattira mu kibiina ekya Uganda Joing Christain Council (UJCC) baabadde baasabye Kadaga ne Among babawe omukisa okubatuuza balabe bwe babatabaganya.

Kyokka aba UJCC kyababuuseeko abavuganya bombi bwe baagaanye omukisa ogwabaweereddwa nga bagamba nti ssentebe w’ekibiina, CEC ne NEC bwe baba balemeddwa, ekkubo lye baba basigazza okukozesa kwe kukuba akalulu mu ttabamiruka. Ttiimu ya Kadaga ne Among eggulo baayongedde okusisinkana abakiise ab’enjawulo nga babaperereza okubeegattako.
Eggulo sipiika yasisinkanye abakiise abaaweze mu bibinja ku Hotel Africana ng’abalala obwedda abasisinkana ku Palamenti.
Obwedda abasaba bamuteekemu obwesige kuba wadde mupya naye abagattako kinene n’okusinga abamu be yasangawo. “Okubeera omupya mu kibiina si musango, era mbakakasa nti mulina ekyobugagga kya Anita. Ng’enda kutambula eggwanga lyonna nga nkungira ekibiina kyange ekya NRM,” omu ku beetabye mu lukiiko olwabadde ku Palamenti bwe yagambye.
Enkambi ya Among erimu ababaka ba Palamenti bangi abaperereza abalonzi okuva mu disitulikiti gye bava nga babalaga ebirungi bye.
Ezimu ku nsonga ze beesibako kwe kuba ng’omuntu waabwe abaddewo nnyo era tagyemerangako kibiina era buli nsonga Gavumenti gy’ereeta agiwagira.
Bagamba nti Kadaga embeera gyalimu takyasobola mulimu gwa kukungira kibiina bulungi ate nga gwe mulimu omukulu gwalina okukola.
Bagamba nti Kadaga agamba nti akoleredde nnyo NRM kyokka bwaba nga Robert Kyagulanyi yawangula Museveni e Kamuli ne Busoga gy’agamba gyalina amaanyi, kabeera kabonero akakasa nti si wamaanyi nga bw’agamba.

Olwokuba nga Among ye Sipiika wa Palamenti, alina ababaka abamukkiririzaamu okuva mu  buli kitundu kya Uganda era kijja kumwanguyira okusaggulira NRM obuwagizi mu ggwanga lyonna.
Kyokka ensonda zaategeezezza nti abamu ku bammemba ba NRM abamaze ebbanga eddene mu kibiina balinamu okutya mu Among nga bagamba ebbanga lye yaakamala mu kibiina teyeetaaga kwesigibwa na kifo kyamaanyi bwe kityo era balowooza nti yandisoose kukulembera waakiri olukiiko lw’abakyala.
KADAGA AYONGEDDE OKUWERA
Enkambi ya Kadaga obwedda abantu babasomba baboolekeza Kingdom Hotel nga nabo batambulira mu bibinja era nga buli avaayo alaga nti musanyufu.

Kadaga  yabannyonnyodde ng’embeera eriwo bwe katali kalulu ka bulijjo, wabula waliwo  abantu abamutambulirako n’ekigendererwa ky’okulaba nga bamusuula aleme kusigaza kifo kyonna kya muzinzi. “Mbakakasa sigenda kuva mu kalulu kano, ng’abamu bwe baagala kuba ekifo nkikoleredde era nja kukirwanirira naye nga sikkirizza kunjooga.

Mpeerezza n’obwesimbu ekibiina kyange nga tewali nsonga lwaki nsindiikirizibwa,” bye bimu ku bigambo bye yategeezezza be yasisinkanye. Enkambi ya Kadaga ensonga ze bawa bagamba aweereza ekibiina n’eggwanga lye okumala ebbanga n’amabatiza era tewali nsonga   lwaki bakimuggyako.
Bagamba Kadaga gwe baggyako ekifo kya Sipiika ate tekibeera kya buntu kumusuuza n’ekifo ky’omumyuka owookubiri owa ssentebe wa NRM.

Omul ku bawagizi ba Kadaga agamba nti Sipiika yali mu FDC, oluvannyuma ne yeesimbawo nga talina kibiina era n’alondebwa ku bumyuka bwa ssentebe bw’akakiiko ka COSASE nga tanneegatta ku NRM. Engeri gyakyusaamu langi z’ebyobufuzi ebalowoozesa nti kiyinza okumwanguyira okukyuka nga bamunyiizizza.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aka NRM yategeezezza nti Dr. Tanga Odoi yagambye nti ku Lwokusatu lwe bagenda okulonda ekifo ky’omumyuka owookubiri owa ssentebe wa NRM, Kadaga ne Among  kye bavuganyaako.

Kuno kwe bajja n’okulondera ebifo ebirala okuli; omumyuka wa ssentebe atwala Kampala, owa Central Region, ow’ekitundu ky’obuvanjuba, ow’ekitundu ky’obugwanjuba, obukiikakkono ne Karamoja