Spine Dokita 256, DJ Shiru omukozi wa Bukedde TV1, acamudde abadigize abakubye endongo e Nakulabye ku Supremacy Lounge mu kivvulu kye ekya Shirumatic Experience 2025, n’abaleka nga bamunyeenyeza mutwe nti ddala ono ye kabaka w’endongo.
Abadigize nga basanyukira omuziki gwa Shiru
Zagenze okuwera ssaawa 3:00 ez’ekiro Olw’omukaaga wiiki ewedde ng’abawagizi ba Shiru bamaze okusalako. Wasoseewo abayimbi abaasanyusizza abantu okwabadde pasita Bugembe, Levixon, Spice Diana, John Braq, Karol Kasiita, Jowy Landa n’abalala.
Ku ssawaa munaana Shiru yalinnye ku siteegi mu sitayiro n’atandiika okunyiga amapeesa n’atabulira abantu omuziki ne babinuka..
Ono obwedda akuba endongo ng’eno abayimbi bwebayimba nga ku bano kwabaddeko Lydia Jazimine, Pallaso, Chameleon, Crystal Panda n’abalala bangi era obudde bwamaze kukeerera ddala ku Ssande abantu ne balyoka bafuluma ekifo.
Abadigize ng'endongo ebakutte omubabiro
Abantu abazze mu kivvulu okwabadde omugagga Godfrey Kyeyune owa Nakawuka Motel 49 ltd, nga wano Shiru wakubira endongo buli lunaku Lwakuna,baatenderezza Shiru olw’okubeera n’obukugu mu ndongo era ne bakakkasa nti baafunye ddoozi gye baasasulidde entuufu.
DJ Shiru
Shiru yasiimye abayimbi abazze mu bungi okumusanyisizaako abantu be, abawagizi abazze mu bungi ko n’abaamutaddemu ssente okwabadde Crown Japan Katwe,Pepsi , Bukedde n’abalala....Mu balala abaawerekedde ku Shiru kwabaddeko abakozi banne ku Bukedde TV okuli; Bruno Betty, Lynette, Tica Tica, Simo Omunene n’abalala.
Dj ng'ayogera