Akalulu k'e kiwaayi ky'abasuubuzi mu NRM aka ssentebe wa ( Entrepreneurs League) kayiise oluvannyuma lw'abavuganya Hajji Hassan Basajjabalaba okwekunga ne bakazira nga bagamba nti yabakwesseko abalonzi okumala ennaku nga tebasobola batuukako nabo okubasaba akalulu.
Akalulu ka NRM akabasuubuzi kayiise
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
Akalulu k'e kiwaayi ky'abasuubuzi mu NRM aka ssentebe wa ( Entrepreneurs League) kayiise oluvannyuma lw'abavuganya Hajji Hassan Basajjabalaba okwekunga ne bakazira nga bagamba nti yabakwesseko abalonzi okumala ennaku nga tebasobola batuukako nabo okubasaba akalulu
Okulonda kuno kubadde ku kisaawe era abaabadde bavuganya Basajjabalaba abalala bataano ne bakaziira okuli Philip Kakuru, Sanjay Tana, Mukesh Shukla, King Cesor Murenga ne Ruyondo Edison
Akulira akakiiko k'eby'okulonda mu kibiina kya NRM Dr. Tanga Odoi agambye nti bayimirizza okulonda kwabwe bamale okwebuuza ku ssentebe w'ekibiina kyabwe abawabule kuki ekirina okuddako.
Basajjabalaba agamba nti obuwanguzi bubwe era alinda lunnaku lwonna lwakulonda abalonzi basalaewo Ani gwe baagala